Okwaluza amaggi g’ebinnyonyi bizinensi nnungi eri abalunzi.Wabula sinnyangu n’olwekyo ebigobererwa ebirungi birina okuteekebwa munkola okusobola okugifunamu.
Mu kugattako,amaggi agamamiddwa tegalulwa n’olwekyo eby’okugobererwa birina okusibwa wo okusobola okukakkasa nti amaggi gonna agaba gagenda okwalulwa gaba malungi okusobola okwewala okufiirizibwa.Amaggi agava mu kisibo kyo gakakasibwa okuvaamu ekisibo ky’embala ennungi.Era n’amaggi agatagwanidde kwalulwa gasobola okulibwa ng’emmere awaka.
Ebigobererwa mu kwaluza
Kakkasa nti amaggi ogagya mu kiffo ekikakkasiddwa okusobola okwewala okugula amaggi agatalambiddwa.
Womala okugatambuza gateeke mu kiffo ekiweweevu nga tonagateeka mu kyuma kyaluza gasobole okufuna ekipimo ky’ebbugumu ekirungi.
Bulijjo amaggi gakungannye mu budde obuweweevu kubanga bwe bulungi okusobola okufuna amaggi agasobola okwalulwa,okugaterekebwa era n’akakoko okukula.
Mukwongerako,teeka enkoko empanga mu nkoko enkazi okusobola okufuna amaggi agasobola okwalulwa.
Era yawula amaggi agatafanagana bukoko bwo era otereke amalungi agagenda okwalulwa okusobola okukuuma embala ennungi mu kisibo.
Era tereka amaggi mu kiffo ekiyonjo era ogalongoose nga togasiimula ku okusiimula kugyako olububi olulikuuma.
Kakkasa nti amaggi ogateeka ku tule erimu ekiffo awatuula eggi nga kimala kiziyize eggi okwatika.
Mu kumaliriza, mu kutereka ebbanga epanvu ko,fuula tule yo ng’ogikyusa oluda buli lunaku enjuba eleme ku kwatira ku bisenge by’ekisusunku era amaggi gatereke mu kiffo ekiweweevu awatatuuka musana okusobola okwewala obuwuka okukula era n’okuyamba ku kwaluza.
Ebigobererwa mu kwalula amaggi
Mukusokera ddala ekisusunku ky’eggi kirina okuba ekiyonjo nga tekuli mabala era eggi teririna kuba litono nnyo oba nga ddene nnyo kubanga amaggi amatono gavaamu obukoko obunafu ate amannene gavaamu obukoko nga bunnene obukula mu ngeri etali ntuufu.
Era ekisusunku ky’eggi kirina okuba nga tekirimu njatika ,nga teryefunnyiza era tegalina kuba nga metoolovu ate era nga si mawanvu. Mukwongerako,amaggi agagenda okwalulwa tegalina kuba matono nnyo okusobola okwalulwa.
Mu kumaliririza,obuwangaazi bw’ekinnyonyi nabwo bwetaagisa nnyo okufiirwako kubanga ebinnyonyi ebitto ennyo bibiika amaggi agavaamu obukoko obulwalalwala.