Ekirwadde kya newcastle kyabulabe nyo eri enkoko nga kino kisobola okuta enkoko zonna mukiseera kitono, ekirwadde kino kisasanyizibwa okuva kunkoko emu okuda kundala. Engeri yokka eyokwewala ekirwadde kino kwekugoberera ebyo ebirabikibwa mubulunzi bwenkoko obwomulembe.
Obubonero kwolabira nga enkoko zirumbiddwa ekirwadde kino mulimu okwasimula, okukulukuta eminyira, okukolola, obuzibu mukusa ne mukutunula, okuzimba mubulago wamu n‘omutwe, kalimbwe ow‘akiragala, enkoko zirya kitono era nga ziba z‘ebase buli kiseera, obuzibu mukutambula, enkoko zitandika okusuula ebiwawatiro awamu n‘okukyuusa obulago. Obulwadde buno busasanyizibwa ngabuyita okuva kunkoko emu okuda kundala, okuleeta enkoko endwadde ku faamu, mumpewo wamu n‘emukukozesa ebintu ebikozeseddwa munkoko ezirina obulwadde buno.
Okwewala ensasana y‘ekirwadde
Kakasa nga oyawula enkoko endwadde okuva mwezo ennamu oluvannyuma mubunambiro webuuze ku omusawo w‘ebisolo kungeri gyoyinza okulabiriramu enkoko zo endwadde. Ekirala sala enkoko zonna endwadde wamu n‘ezo eziraga obubonero bw‘obulwadde. Ekisembayo ziika oba yokya enkoko zonna eziba zifudde ekirwadde kya newcastle.
Okweetangira ekirwadde
Wetanire okugema enkoko eri obulwadde buno wamu n‘okwawula enkoko eziba zakaletebwa okusobola okuzekenenya obulungi. Ekirala beera muyonjo ku faamu nga onaaba engalo wamu n‘okwoza engoye n‘engatto byokozesa munkoko. Wewale nyo enkoko obutegatta n‘abinyonyi birala okusobola okukendeeza kunsasana y‘obulwadde. Ziimba ekiyumba ky‘enkoko nga kisituliddwa okuva kuttaka ate nga kiyisa bulungi empewo kino kiyamba kalimbwe okugwa wansi obulungi olwo nekitaasa kubuwuka obuleeta obulwadde buno.
Buli kawungeezi nga enkoko ezikereddwa okutayaya zikomyeewo awaka kakasa nga ozirikiriza ku mmere erimu ebiriisa kino kiyamba kumubiri gwaazo okusobola okulwanyisa endwadde wamu n‘okuzisikiriza okukomawo awaka olwo nezitasula mukyaalo.