Mu kulunda enjuki okwekebejja omuzinga gw’enjuki kuyamba omulimi okumannya embeera omuzinga gw’enjuki kweguli.
Okukola okwekebejja kunno,koomera omuzinga era ogupangulule.Okwekebejja nga kukolebwa,tunoonnya obubonero bwonna n’embeera emuzinga omulungi mwegulina okuba era mu kiseera kyekimu netunooonya n’obu`bonero bw’obulwadde.
Engeri y’okwekebejjamu
Sala era ojjeko mpola ekisenge eky’awaggulu ku kibokisi. Oteekeddwa okulaba omubisi oguterekeddwa ku kisenge ekyo awamu n’oluzzi olulimu sukaali nga luli mu buntu obumasamasa,obukwasisa obutono n’enjuki ensajja era mubeera mu n’emmere eterekeddwa.
Akasenge kanno kesigamye ku nsonda y’omuzinga era ojjeko ekisenge ekiddako okwekebejjebwa.Kinno kiyinza okubaako enjuki ensajja ezitanakula n’amaggi wabula okulaba amaggi,kozesa omukono ku kasenge okugyako enjuki era owanirire akasenge omusana gusobole okwaka ko obutereevu okutuuka wansi w’olubaawo.
Mu kaseera k’okwekebejja,olina okumannya nti enjuki ezitazaala,enkozzi ezitanakula kuvva mu bisawo ziba mu obusawo buseeteevu wabula ate ebisawo omuba enjuki ensajja biba byetoolovu.Mu biseera by’ebbugumu,ebikwata ebbisenge by’omuzinga biba bigonda n’olwekyo obusenge buba bwangu okugyako.
Enjuki enkazi ebiseera ebisinga esangibwa mubiffo ewali ebisawo by’amaggi awalabika nti wezibiika amaggi, mu kiffo wennyini wegaalulwa. Akasenge k’ebweru awaludibwa ebiseera ebisinga guba mubisi era kakasa nti bulijjo ozaawo ebisenge mu biffo bya byo ng’okwekebejja kuwedde.