Okuziyiza okufiirizibwa oluvanyuma lw’amakungula: Emitendera mukulima

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://sawbo-animations.org/579

Ebbanga: 

00:06:01

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO
»Emitendera mukulima kitwaliramu abantu abakola kumitendera egyenjawulo mukulima. Kino kitw'aliramu buli muntu akola okusobola okutwaala ekirime okuva ku nimiro gyekyaalimwa, okutuusa kw'agenda okukirya. Akatambi kano kalaga omugaso gw'abuli muntu mumitendera gino.«
Emitendera mu bulimi kitw’alilamu buli muntu akola okusobola okujja ekirime ku mulimi eyakirima okutuusa kw’oyo omuntu agenda okukirya. Buli muntu mu mitendera gino w’amugaso.
Omulimi bw’akozesa ensigo ez’omutindo omubi, n’afuuyira neddagala ery’alayisi ate era nga ly’abutwa nga waliwo okulumbibwa kw’ebitonde eby’onoona ebirime, era bw’akungula kasooli, talongoosa n’akukaza, talongoosa nakutereka kasooli bulungi  ate era n’agatta amayinja munsawo okusobola okuzizitoya, afuna sante ntono okuva kumusuubuzi bw’atunda ebirime bye olw’omutindo omubi ogw’ebirime bye.

Abasuubuzi n’abakubi

Omusuubuzi bw’atunda kasooli eri oyo amukuba mu kyuuma, n’omukubi awa omusuubuzi omuwendo ogguli wansi era omusuubuzi takola magoba gonna. Omukubi alongoosa, akaza era n’akuba obuwunga mu kasooli. Omuguzi agula obuwunga n’atwaala awaka naye ate abenganda tebasanyukira mpooma y’akawunga era kaleka abamu ku baana nga balwadde. Kino tekiyina gwekireka mumitendera gino nga musanyufu.

Omutindo gweyongera

Naye ate omulimi bwagula ensigo nga y’amutindo era n’akozesa eddagala etuufu mukufuuyira, afuna amakungula mangi ate era bwakaza kasooli, awewa era n’amutereka bulungi n’asalawo okumutunda n’abalimi abalala oluvanyuma lw’okunoonyereza bulungi kubutale, afuna emiwendo emirungi okuva ku musuubuzi. Omusuubuzi naye aguza kasooli omukubi ku muwendo omulungi naye n’amukubamu akawunga kaguza abakyaala bangi kumiwendo emirungi, abakyala bafumbira abenganda z’abwe emere era buli omu aw’omerwa emere. Wano buli muntu mu mitendera gino abeera musanyufu.
Kino kisoboka singa enkola ennungi mukulima zigobererwa, okutambuza, okutereka wamu n’okwongera omutindo, abalimi, abasuubuzi wamu n’abakuba nga bakoledde wamu okuzimba enkolagana era nga bamanyi bulungi ebifa mubutale.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:42Buli muntu mu mitendera gy'okulima w'amugaso.
00:4302:12Omulimi bw'alima bubi, era n'ebikolebwa oluvanyuma lw'amakungula, afuna amakungula agatali g'amutindo agaviiramu okufuna sente entono okuva eri omusuubuzi.
02:1303:12Omusuubuzi naye afuna sente ntono okuva eri omukubi era n'omukubi okuva eri abalya. Akawunga tekawoomera balyi era kalwaaza abamu.
03:1304:49Omulimi bwalima bulungi n'ebikolebwa oluvanyuma lw'amakungula nga birungi, afuna amakungula amalungi era buli omu mumitentera gino afuna emiwendo egyegasa era n'abalya bafuna ekijjulo ekiwoomu.
04:5005:30Buli omu mu mitendera gino abeera musanyufu nga ennima ennungi egobereddwa wamu n'ebikolebwa oluvanyuma lw'amakungula, omulimi, omusuubuzi wamu n'omukubi bakolera wamu okuzimba obw'esigwa era bwebabeera n'okumanya kubutale nga bwebutambula.
05:3106:01Obufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *