Enkwa ziviira ko okulemererwa obulunzi bw’ebisolo ,zino zi zireetera okufiirwa omussaayi,zitambuza enddwade n’okuteeka amabwa ku nsolo.Wabula singa tuyita mu ngeri ennungi eziziyiza enkwa zinno owo zisobola okwewalibwa.
Mu kwongerako,wewale nnyo okukozesa eddagala erifuuyirwa kubanga lino enkwa lizewala.Okwewala enkwa obulungi olina okozesa \enkola ekakkasiddwa gavumenti , abantu basekinomu awamu n’abalimi.Era kyamugaso nnyo okozesa eddagala eritta enkwa erikulambikiddwa okusobola okwewala okukosa ebisolo n’abantu
Engeri y’okwewala mu enkwa.
Bulijjo nnyika ebisolo mu ddagala eritta enkwa erikulagiddwa okusobola okukendeza obukosefu enkwa bwezireeta ku nsolo nga kwotadde n’okugema,okutumbula n’okukuuma obusobozi bw’ebisolo bwebirina okusobola obutakosebwa nkwa.
Funna ebisolo ebitasobola kosebwa nnyo nkwa era ensolo zo zikebere ng’omaze okuzinnyika okusobola okulaba oba zinnyikiddwa bulungi.
Mu kugattako,kozesa fuuyira ebisolo byo n’emikono n’okozesa eddagala eritta ebiwuka okusobbola okutta enkwa n’enswera.
Kakkasa nti bulijjo ogema ebisolo byo okuvva eri enddwade ezireetebwa enkwa era ozigeme okusobola okulwisa wo enkwa okwaala.
Kyekimu,abalunzi abalunda ekitono batendeke enkola z’okwewala mu enkwa ng’oyita mu nkola ezigunjuddwa wo.
Mu ku komekereza,enkwa zisobolera ddala okwewala nga tuyita mu bwegasi bw’abalunzi n’abo abasa ensimbi mu bulunzi okusobola okufuna enkola ezisoboka abalimi zebasobola okozesa okwewala enkwa.
Engeri y’okunnyika mu ensolo.
Okunnyika ensolo obulungi (intensively dipping), omulunzi alina okunnyika ensolo buli lunaku okusobola okuziyiza enkwa okuwera.
(Strategic dipping)Okunnyika nga wetegekera ekiseera enkwa weziwerera ,mulimu okujjanjaba ng’ekiseera enkwa mwezizindira ekitundu nga tekinatuuka.
Enkola eyitibwa (thresh hold control) Wanno ebisolo biteekebwa ko eddagala singa obungi bw’enkwa bususe ku mutendera ogukirizibwa oguyinza okuviira ko okufiirizibwa mu nsiimbi.