Emiyembe girimu ekiriisa ate nga miwoomu naye gikwatibwa mangu ebitonde ebyonoona ebirime nga ebiwuka ebyonoona ensigo.Okwetangira mu budde kyongera ku mutindo.
Ekiwuka ekyonoona ensigo z‘emiyembe kivaako okwonoona ekitundu ekiriibwa ku muyembe n‘ensigo ekivirako ekibala okunogoka nga tekinakula bulungi.Obulamu bw‘ekiwuka ekyonoona ensigo z‘omuyembe bwe buno; ebiwuka ebikulu bibeera bya kitaka omukwafu n‘ebifuna langi eyakilagala omusiwuufu ekibisobozesa okusigala ku kikakkampa mu biseera eby‘okussa. Birya miyembe gyokka era bisobola okuwangaala okumala ebbanga eddene nga tebirya. Ebiwuka ebikuze bigenda mu matabi okuwaka n‘okubiika amagi agalulwa negafuuka ekisanyi wakati w‘ennaku 3 ne 4 oluvanyuma n‘ebiyingira mu nsigo mwebikulira ate oluvanyuma bivamu n‘ebyekweka mu bikakkampa ebitakute bulungi, ebikoola ebigudde n‘emiti emikalu.
Omutego gw‘ebiwuka ebyonoona emiyembe.
Faayo nnyo okuzuula ebitonde ebyonoona ebirime mu nnimiro y‘emiyembe era okozese omutego ogukwatira ogusikiriza ebiwuka ebyonoona emiyembe. Ekirala kozesa eddagala erifuyira ebiwuka naye lino likosa omulimi n‘ebiwuka ebirungi mu nnimiro y‘emiyembe. Fuba okwaza ebiwuka bi weaver ants mu nnimiro y‘emiyembe era oyokye kawunyira,okusoboozesa ebiwuka okubirya n‘ebikoola bya tithonia okuvaako omukka ogugoba ebiwuka ebyonoona ensigo.
Kozesa enkola ezigobererwa mu nnima ennungi nga okusaanyawo ebibala ebigudde, okuziika ebibala mu ekinya ekiweza obuwanvu bwa 50cm okusobola okutta ebiwuka ebyonoona ensigo ebiba bikuze. Ng‘omaliriza kunganya ebibala byonna ebigudde lwakiri omulundi ggumu mu wiiki era osalire emiti okukendeeza ku bunyogovu obuvirako okukula kw‘ebiwuka ebyonoona emiyembe.