Okulima emiyembe kulimu okusoomozebwa kungi , ekibabuko kyekimu ku kwo. Okwekenennya okulungi n‘okuziyiza kikulu nnyo.
Ekibabuko nddwadde ya lukuku eganjja ennyo mu biffo ebiweweevu oba ebibisi era nga kikwata ebikoola n‘ebibala. Kireeta nnyo obukosefu mu nnimiro naye era kisigala kyamutawaana nemukukungula. Ebibala bibaako amabala amaddugavu naye bisigala bikula .Kinno kitta akatale k‘emiyembe naddala ak‘ebweru.
Obubonero bw‘ekibabuko.
Akabonero akasinga okulabika ennyo ,g‘emabala agabbeera ku bikoola. Butandiika butono naye nebbugejja pakka nga buleese obutuli ku bbikoola. Obulwadde bunno buleeta obubala obuddugavu ku kakonda k‘ebimuli , wekiba kikuze ,kikyusa langi nekiffa. Obukosefu ku kibala bulabikira wo nga kyakatondwa. Ekibala kisobola okufiira wo oba okugwa oba okusigala ko; ebyo ebisigala ko bifuuka nsibuko y‘obulwadde.
Engeri y‘okwewalamu endwadde enno.
Okutangira endwadde nga tukozesa emikono kulimu okuloondola enimmiro okwekennenya obubonero oba kwebuli ku birime. Ekibabuko kiteeberezebwa era kirabika ng‘enkuba yakamala okutonnya. Jjako ebitundu ebirwadde era osale waggulu amatabi okuteekawo omuwaatwa awasobola okuyita ekitangaala ekirungi n‘empewo.
Nga tweyambisa eddagala, eddagala erifuuyirwa ku bimere lisobola okozesabwa naye nga teriri lyoka wabula olina okweyambisiza enkola endala ezikozesa emikono. Osobola okozesa eddagala erifuuyirwa eritambulira mu kirime paka awali ekirwadde oba erifuuyirwa ku kitundu kyennyini ewali ekirwadde. Fuyira eddagala ewali ekirwadde nga akabonero akasooka kakalabika. Amangu ddala ng‘ekirime tekinamulisa , kozesa edagala eritambulira mu bitundu by‘ekirime . Mu kaseera k‘okumulisa, tokozesa ddagala lifuuyirwa lyonna naye wekimala okumulisa fuyira awo wennyiini awali ekirwadde.
Beera nga okyusakyusa enfuyira eyo buli wiiki 3 ku 4 era woba ofuyira ,beera nga okyusa ebirungo.Lekera awo okufuuyira nga wabulayo wiiki 3 okukungula.
Okumannya omuwendo gw‘eddagala eryetaagibwa, tabula amazzi n‘ebirungo ebikyusa langi era ototobaze omutti. Kebera omuwendo gw‘amazzi ogukozeseddwa era ogukozese okumannya omuwendo gw‘eddagala ogwetagibwa okufuuyira faamu yonna. Wobeera ofuuyira, fuyira bulungi buli mutti era tandiikira munda ,oluvannyuma odde ebweru. Fuuyira waggulu ngawokilira n‘okwetoloora amatabi ng‘okakkasa nti ebitundu byonna bifuuyiddwa.