Ebitonde ebinyunyusi bya bulabe nnyo mu bisolo era nga bino bisobola okuba eby’omunda oba eby’ebweru.
Ebitonde ebinyunyusi eby’omunda bya bika bisatu era nga muno mulimu; enjoka eza round worm, tape worm ne ziyitibwa fluxes. Wabula ate mu njoka, ezisinga okumanyika ennyo zeeza; wire worm ne tape worm ate mu flukes ezisinga okumanyika zeeza liver ne cornical. Kikulu nnyo omulunzi okumanya kika kya njoka ki ekitawanya faamu ye.
Eddaggala erikozesebwa ng’olumbiddwa enjoka
Kino kiyinza okukolebwa ng’okola ebintu 5 okukebera obubonero bw’endwadde butaano omuli; okukebera ennyindo, ekinywa ku mubiri wansi w’obulago, okukebera oba eddukana wansi w’omukira, okukebera amaaso oba terina musaayi n’embeera gy’erimu ku mubiri.
Enjoka z’omunda nga wire worm oba liver fluke zisobola okuvirako ensolo okugwamu omusaayi oba okufa kw’ensolo zo, ate conical fluke evako obuteyagala nga kiva ku kuddukana wabula ate zo tape worm eviiraako ebisolo okufuna akabuto oba n’okutoniwa.
Okujjanjaba kw’enjoka
Ng’omulunzi, olina okutegeera obuwangaazi bw’ebitonde bino ebinyunyusi nga tewerabidde ebibireeta n’ebirungo ebikolerawo ebiri mu ddagala erikozesebwa okutta enjoka kuba erimu likola ku njoka nkulu n’eddala likola ku njokya ezikyali ento.