Okulunda ensowera enzirugavu mulimu ogiufunira ddala sente eri abalimi kubanga kyetagisa entandikwa ntono n‘awalundibwa watono.
Akayumba k‘ensowera enzirugavu webakumira ensowera enkulu okumale enaku 4 ku 7 weziwakira era nezibiika amagi. Nga ogwo omutendera gw‘obutondemu kuzaala guwedde enkazi zibiika amagi okumbi n‘emmere weva. Emmera eyinza okuba ebibala ebyengevu, obusa bw‘ente oba ekintu kyona ekivunda nga kiwunya nnyo. Wabula akayumba kalina okwawulibwamu ebitundu bisatu okuli wesiwumulira, wezirira ne wezibiika okwanguyisa endabirira.
Okuzimba akayumba
Tandika olugendo nga ozimba era nga owanika akatimba akobuwanvu bwa 1m n‘obugazi bwa 1m nobuwanvu bwa 1.5m waggulu okuwa ensowera ekifo ekigazi okwetalira.
Olw0 okakase nti obutimba butunudde wansi okufuna akasana akawera emisana, bwomala oteeke olubawo lwa pulaayi ku ntobo y‘akatimba ku buwanvu bwa bigere 2 okulaba nga omusana gukubira ddala ku lubawo.
Bwomala ekyo wansi obikewo, ojjuzemu ne ttaka era oteeke ekimera kungulu okuleletera ensowera okulowooza nti ziri wantu wabulijjo.
Bulijjo kakasa nti okuzimba akafo wezibikira nga ka 25cm ku25 era nga buli kumukumu kuba ensowera tezibiika kumpi nawabeera ebivamu emmere naye mu busengesenge n‘enjatika.
Mukusembayo awabikirwa wateeke waggulu nawali emmere munda mu katimba okusikiriza ensowera okubiika amagi mu buntu bunno.