»Okutendekebwa mu kulunda embizzi – endabirira y‘obubizzi obuto«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=d7kaw6CG-WU

Ebbanga: 

00:10:09

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Hubbard Animal Nutrition
»Yiga ku mugaso gw‘emmere, amazzi n‘ebiriraanyeewo eri embizzi ezaakava ku mabeere. Jamie Pietig asomesa ku ndabirira y‘embizzi eya buli lunaku, okuliisa ensolo emmere etabuddwa mu mazzi n‘okuzuula embizzi eziyinza okuba nga zifuna okusoomoozebwa mu bulamu bwazo.«

Olw‘okubeera n‘ebiriisa ebingi ate n‘ennyama eterina bigodo, okwagala ennyama y‘embizzi kweyongedde ku katale so nga okubeerawo kwayo kukendedde nga kino kiva ku nzaaza n‘endabirira y‘ebisolo embi ekikosa ebifunibwa mu bulunzi.

Ebintu ebikulu mu ndabirira y‘obubizzi obuto mulimu amazzi, emmere, ebiriraanyeewo n‘endabirira ya buli kabizzi.

Endabirira y‘obubizzi obuto

Endiisa okubeera nti kimu ku ebyo ebisinga okukosa omutindo gw‘amata, kozesa ebirungo eby‘omutindo ogwa waggulu wamu n‘ebyetaagisa ebisaana era okakase nti obubizzi buliira ddala nga okozesa ebyeyambisibwa mu kuliisa nga okuziteera wansi.

Ekyokubiri, teeka emmere y‘ebisolo mu biriiro ensolo zirye ekikolebwa nga emmere etabuddwamu amazzi nga okozesa ebiriiro ebitabulirwamu emmere erimu amazzi okugeza, ekiriiro ekikoleddwa mu ppayipo eza ppulasitiika. Tabula ekitundu ekimu eky‘emmere mu bitundu bibiri eby‘amazzi okwongera ku nnywa y‘amazzi n‘obungi bw‘eby‘okulya eri embizzi.

Era mu kwongerezaako, amazzi gakozese bulungi era laba nga weegali mu birobo bisatu oba bina buli lunaku so nga ku bubizzi obwakazaalibwa, kubamu amazzi okusobola okuggyamu amazzi agaalegamye nga bw‘oyongera okulaba nti empewo eyita bulungi mu kiyumba omuterekwa emmere era opime n‘ebbumu.

Si ebyo byokka ebyogeddwako waggulu wabula era yongera okufa ennyo ku ndabirira ya buli nsolokinneemu era owe obujjanjabi obwetaagisa eri buli nsolo.

N‘ekisembayo, kebera obwoya obuli ku nsolo ne langi y‘embizzi anti ku mbizzi ennamu obulungi olususu lubeera lukalabula era oteeke buli mbizzi mu kayumba ak‘enjawulo okuzuula obubizzi obulwadde n‘obulina embeera ezitali za bulijjo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:17Ebintu ebikulu mu mbizzi ento mulimu emmere, amazzi, ebiriraanyeewo, n‘okufa ku nsolo kinneemu.
00:1801:03Liisa embizzi emmere eri ku mutindo ogwa waggulu wamu n‘ebyetaagisa ebisaana okufuna amata amalungi.
01:0401:45Kakasa nti embizzi eriira ddala nga okozesa ebyeyambisibwa okugeza, okuteera embizzi emmere wansi n‘eriira awo.
01:4602:17Teeka emmere emala mu biriiro ensolo zirye nga emmere etabuddwa mu mazzi.
02:1804:00Ekika ky‘ekiriiro omuliirwa emmere etabuddwa mu mazzi mulimu ekiriiro ekikoleddwa mu ppayipo/omudumu ogwa ppulasitiika.
04:0104:43Amazzi gakwate bulungi era laba nga weegali buli lunaku.
04:4405:58Laba nga empewo entonotono eyita mu kiyumba omuterekwa emmere era opime n‘ebbugumu.
05:5907:11Okufa ku nsolo kinneemu okuyita mu kuwa ensolo obujjanjabi obusaanidde.
07:1207:52Kebera ku bwoya ne langi y‘embizzi.
07:5310:03Teeka ensolo emu mu kayumba kamu okuzuula ensolo endwadde n‘eyo erina embeera ezitali za bulijjo.
10:0410:09Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *