»okutega ebibinja by’enjuki n’endabika y’omutego«
Nga tonaba kuteekayo mutego , endabika y’omutego n’engeri gy’oguteekayo bye bisinzirwako okukwata ebibinja by’enjuki oba nedda.
Abantu bangi bakozesa bbokisi ey’olubaawo olunene( five frame box) okutega ebibinja by’enjuki kubanga kibanguyira naye okwongera ku mikisa gy’okukwata ebibinja by’enjuki, olina okuziwa amabanga agamala.
Enjuki zagala omutego omusaamusaamu oguzitowa liita 40.
Osobola okutuukiriza kino singa ogatta bbokisi z’embaawo ennene bbiri (five frame box) wamu. Oluvanyuma lw’okuzigatta wamu,olina okuzinyweza wamu zonna nga tonaba kuziwanika ku muti.
Obukodyo obulala
Omutego gw’olubaawo (10 frame)gw’ebibinja gwetaaga okuteekebwako akabaawo wansi n’egubikibwako nga tonaaguwanika waggulu okusobola okukwata enjuki.
Osobola okugula ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa mu kutega ebibinja by’enjuki okugeza ekisero ekigazi ekiteekebwa ku muti. Obuzibu bwakyo buli nti singa enjuki eziba munda zizimba ekisenge, olina okusala ebisenge okuva mu kisero n’obiteeka ku lubaawo mu muzinga gw’enjuki.
Nga weyambisa emitego gy’enjuki n’embaawo, teekako olubaawo lumu oluliko ekisenge ky’enjuki ekyasigalako omubisi kubanga luno luba na kawoowo akasikiriza enjuki.
OKwongerezaako, olina era okweyambisa ekintu ekiyinza okusikiriza enjuki.
Omulyango gw’omutego gw’enjuki gulina okuba nga gwenkanankana 1.5 oba 2.5 square inch