Okuteekateeka ebitooke wamu n’okusimba endukusa za gonja okukendeeza kubitonde eby’onoona ebirime era n’okwongera amakungula

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=ZWXQrgnd6_c

Ebbanga: 

06:27:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO™ Scientific Animattion Without Borders
Okw'ongera ku mutindo kwokulima amatooke, omulimi asaanye okukozesa endukusa ez'omutindo era n'okuteekateeka ennimiro bulungi okukendeeza ku bitonde ebyonoona ebirime n'okwongera amakungula. kubanga endukusa zitera okulumbibwa obuwuka obusirikitu obuyitibwa nematods wamu ne banana weavils, nyika endukusa mu mazzi agatokota okumala obutikitiki 30okutta obuwuka. Londa endukusa ennamu era osaleko emirandira okutuusa nga zifuuse njeru bulungi era tokozesa ndukusa ziliko mirandira mingi oba okuli obutuli bw'obuwuka.

Okuteekateeka endukusa

Ekisooka, okujanjaba endukusa nga weyambisa amazzi agatokose, obeera wetaaga enku, omuliro, entamu y’amazzi agookya, amazzi, ebitundu byemiguwa 2 egiriko obuwanvu bwa 60cm, omuti gwa buwanvu bwa 2.5cm -3cm, obuyinja obutono 30 oba ebijanjaalo era n’akalobo akatono. Kuma omuliro oteekeko entamu otekemu ebitundutundu biri bya kusatu eby’amazzi.
Mungeri y’emu, siba kubuli luda olw’omuguwa ogumu kubuli mukonda gwa kisero okufuna empulutuluzo n’omuguwa era oteeke omuti kubuli mpulutulizo y’amuguwa. teeka ekisero kyendukusa mu mazzi agatokota era pima obudde bwendukusa nga ziri mu mazzi.
Teeka obuyinja 30 mu mulengo, teeka entamu eya 50cm era amazzi kasita gatokota, teeka endukusa mu kisero era ozinyike mu mu mazzi agatokota okumala obutikitiki asatu. Jamu ekisero mu mazzi akatokose era otte obuwuka ku ndukusa okumala obudde obutuufu.
Mukweyongerayo, neera tema endduli mu bitundutundu byabuwanvu bwa 20cm, bwawulemu wakati era obiteeke ku ttaka nga bitunude wansi era oteeke endduli ezitemedwa mubanga lya 40cm okuva ku kitooke kubanga bino biyinza okusikiriza obuwuka. Teeka endduli ezitemedwa mu nnimiro ku saawa nga 12 ez’akawungeezi era olambule endduli buli lunnaku kumakya okumala ennaku 4, kungaanya ouwuka era obutte.
Ekisembayo, zaawo oluda olutemedwa nga lutunude wansi mu ttaka.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:41Edukusa zitera okulumbibwa obuwuka obusirikitu obuyitibwa nematods wamu n'obuwuka obuyitibwa banana weevil.
00:4200:52Okunyika endukusa mu mazzi agatokota kitta ebiwuka.
00:5301:23Londa endukusa okuva kubirime ebiramu era otemeko emirandira.
01:2402:07Okujanjaba, omuntu y'etaaga enku, omuliro, entamu, emiguwa, omuti wamu n'obuyinja obutono.
02:0802:15Kuma omuliro oteekeko entamu era ogijuze amazzi gakipimo kya 2/3.
02:1602:24Siba kubuli ludda lwamuguwa ku mikonda gy'ekisero.
02:2502:27Teeka omuti kubuli mbulutulizo y'omuguwa.
02:2802:45Teeka ekisero ekirimu endukusa mu mazzi agatokota era owandiike omudde.
02:4603:25Tuuma obuyinja muntuumo era oteekeko entamu.
03:2604:09Amazzi kasita gatokota, teeka endukusa mukisero era ozinyike mu mazzi agatokota.
04:1004:18Gyamu ekisero mu mazzi agatakota.
04:1904:54Endukusa zimaze mu mazzi obudde obutuufu.
04:5505:02Era nate oyinza okutangira ebiwuka nga osimba endukusa ezakasalibwa mu nnimiro.
05:0305:17Teemateema endduli mu butundutundu, zawulemu era oziteeke ku ttaka nga zitunude wansi.
05:1805:35Teeka endukusa ezakaemebwa wala okuva ku kitooke era osimbe endukusa ezisalidwa mu nnimiro ekawungeezi.
05:3605:43Kebera ku ndukusa buli lunnaku okumala ennaku nnya buli kumakya, kungaanya ebiwuka era obitte.
05:4405:49Zaawo oluda olusalidwaako nga lutunude wansi ku ttaka.
05:5006:27Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi