Obulwadde obuleeta amabala agakitaka kubikoola by’omuceere bulwadde obuva munsigo z’omuceere era bwebukwata enimiro y’omuceere buvirako amakungula amatono ekireeta amagoba amatono era n’okukendeeza kunfuna y’omulimi.
Ekirwadde kirumba ensigo, ebikoola, enduli era wamu n’empeke ekiretawo obw’etaavu mukwanguwa okubuzuula wamu nengeri z’okubutangiramu ziyamba. Mukugatako, obulwadde obuleetera ebikoola amabala ga kitaka buletebwa kawuka akayitibwa fungai era nga bukyuusa langi y’ebikoola era namabala aga kitaka. Bulijo obulwadde buno buleetebwa nankola z’abutategeka ttaka bulungi.
Okussasaana kw’obulwadde
Obulwadde obuleeta amabala ga kitaka ku bikoola bulijo bussasaana okuyita mu nsigo enddwade n’olwekyo kikubirizibwa okukozesa ensigo ezikakasiddwa.Mukw’eyongerayo, bulijo kakasa nti ensigo zinyikibwa mu mazzi agabuguma oba muddagala eritta obuwuka nga tonaba kusimba kubanga kino kikuuma ensigo.
Okutangira obulwadde
Kakasa okuteekateeka kwettaka okulungi nga oliseetewaza, okuziyiza amazzi agalegama era wewale emiddo egivuganya kubiriisa by’ebirime. Mukugatako, simba nga weyambisa ensigo ezikakasiddwa okuva mubatuunzi beby’obulimi ab’esigika. Era enimiro z’omuceere zikuume nga temuli muddo okuziyiza okussasaana kwenddwade era bulijo kozesa ebiriisa byonna eby’ebirime oluvanyuma lw’okukebera ettaka okukasasa okumera kw’ensigo okulungi. Mukw’eyongerayo, fukirira enimiro y’omuceere era buli kiseera lambula enimiro okusobola okuzuula ebirime ebikwaatidwa. Ekisembayo, jamu era ossanyeewo ebimera ebyo ebirwadde wamu n’okukozesa eddagala ly’ebiwuka erikubirizibwa.