Ebijanjaalo n’enva endirwa birimibwa okwetoloola ensi yonna. Ebijanjaalo, enva endirwa n’ebimera ebirala biteera okutawanyinzibwa obuwuka obuyitibwa aphids.
Obuwuka obuyitibwa aphids bubeera butono nga bwa kiragala oba buddugavu era butawanya ebimera bingi okugeza ebijanjaalo, mustard n’emboga. Obuwuka bwa aphids bwonoona ebimera nga binuunamu omubisi ekivirako ekimera okukula empola. Era obuwuka buno busobola okutambuza endwadde ez’enjawulo okuva ku bimera ebirwadde n’ebusiiga ebimera ebitali birwadde.
Lambula nga ennimiro yo buli kadde osobole okunoonya obuwuka bwa aphids era bwosanga akabondo kabwo, butte nga okozesa engalo zo. Bumansire empumbu etajja kwokya bimera oba bufuuyire amazzi agatabuddemu ssabbuuni ayoza.
Engeri y’okutangiramu obuwuka obuyitibwa aphids
Bwosanga akabondo k’obuwuka bwa aphids mu nnimiro y’enva endirwa, busaanyewo nga obunyiga n’engalo oba bumansireko empumbu .
Osobola era okubufuuyira n’amazzi agatabuddwamu ssabbuuni ayoza okusobola okutta obuwuka buno.Osobola era okukozesa eddagala okuva mu kimera kya neem oba simba ebimera ebiyitibwa mustard okusobola okutega ebiwuka ebiyitibwa lady bird beetle biziyize obuwuka bwa aphids.
Enkola zino zijja kuwa ebijanjaalo ebirungi n’enva endirwa ennungi omutali buwuka bwa aphids n’eddagala