Okutangira mu ngeri ey’obutonde
Ekisanyi kifuukamu namatimbo mu wiiki 2 oba 3 oluvanyuma lw’okwaluliibwa, mu nnaku wakati we 5 ne 12 kifuukamu ekiwojjolo, ebiwojjolo bisinga kubuuka nnyo mu budde bw’ekiro ate mu budde bw’emisana n’ebiwummulira ku bikoola. Ebiwojjolo biba bitono nnyo nga birina ebiwaawaatiro ebitono ebya langi ya kyenvu n’enjeru ate enkola eza push pull ezeyambisibwa mu kuziyiza ebiwojjolo, omuntu alina okweyambisa ebitonde eby’obulabe mu kutangira ebitonde ebyonoona ebirime okugeza okuleka ennumba zirye ebisanyi ebiwojjolo ebiyitibwa stem borers.
Mu ngeri y’emu, simba ebimera ebitangira ebiwojjolo okwetoloola kasooli era sooka osimbe kasooli n’oluvannyuma simba omuddo oguyitibwa mutasukka kkubo (desmodium) mu makati mu nnyiriri kuba gulina ebirungo ebigoba ebiwojjolo.
Mu kufundikira, simba ebisagazi ku nsalosalo z’ennimiro okugoba ebiwojjolo