Lumonde y‘emu ku mmere esinga omugaso n‘ebirime eby‘ensimbi mu bitundu ebiriraanye eddungu lya Sahara mu Africa naye bisanga okusoomoozebwa kungi. Okuwotoka mu lumonde kwe kusoomoozebwa okusinga.
Amakungula ga lumonde matono mu Africa era kireetebwa endwadde, obutaba na nsigo nnyonjo, ettaka obutabeera jjimu n‘endabirira y‘ettaka embi. Mu Uganda, Kenya ne Ethiopia, amakungula agafunika gali nga mu tani kkumi buli yiika kkumi nannya wabula amakungula amalungi gali wakati wa tani asatu ku asatu mu ttaano buli yiika kkumi nannya. Ekirwadde kisaasaana okuyita mu ttaka n‘ensigo endwadde ezisimbibwa. Mu Africa, embeera esajjuka olw‘abalimi okubulwa okumanya ku ngeri ennungi ezikwata ku bulamu bw‘ettaka n‘endabirira yaalyo.
Okwekenneenya obulwadde
Ku faamu, ekirwadde kizuulibwa oluvannyuma lw‘okwekenneenya okuyitibwa okukebera amazzi ag‘olutaatata era enduli y‘ekirime ekiwotoka esalibwa n‘eteekebwa mu giraasi y‘amazzi amayonjo era ekirime bwekiba ekikosefu, amazzi g‘olutaatata galabibwa nga gava mu nduli.
Ekirwadde ky‘okuwotoka kisaasaana mu nsigo ne mu ttaka era kyeyongera okusaasaana mu nnimiro okumala ebbanga ddene kasita waba nga waliwo ekikireeta okulemerawo. Kisaasaanira nnyo mu lumonde n‘ebirime eby‘ekika ekyo.
Ekirwadde era kisobola okubeera mu kirime nga tekiraze kabonero konna era kino kibeera kyangu nnyo ekirwadde okubeerawo naye nga tekirabiddwa na maaso olwo ne kisaasaanira mu bitundu ebirala okuyita mu nsigo noolwekyo obwegendereza bwetaagibwa.
Okulwanyisa kiwotokwa
Okunoonyereza kukoleddwa okutandikawo enkola ezoobutonde eziyamba okulwanyisa kiwotokwa. Enkola zoobutonde ttaano zizuuliddwa okulwanyisa kiwotokwa okutuuka ku 80%. Bino bikozesebwa wamu n‘ekola endala ez‘okuziyiza.
Mu kulwanyisa kiwotokwa, essira lirina okuba ku bifo bisatu eby‘enkukunala; Okutandika enkola y‘okukyusa ebirime ebisimbibwa mu buli sizoni okulwanyisa obulwadde, okwongera ku bugimu bw‘ettaka n‘okufuna ebikozesebwa okusimba ebiyonjo.