Obulunzi bw’endiga bufuna nnyo,ate n’ennyama y’endiga ewoma,erimu ekiriisa ate evaamu ensiimbi eziwera .Endiga nnyangu nnyo okulabirira era okutandika faamu yazo kyetagisa okukola enteekateeka enungi.
Kirungi nnyo bulijjo okukuuma ebiyumba by’endiga nga bitukula ate nga bikalu okusobola okwewala endwadde okumerukawo .Era olina okukakkasa nti ebiyumba biyisa bulungi empewo era nga bituuka mu bulungi ekitangaala.
Mu kugatako,Ensolo ziriise emmere eri kumutindo.
Ebigobererwa mu kutandiika
Tandika na kulonda kiffo ekigwanidde okusaako faamu nga kirimu amazzi amayonjo,nga kirina entambula era nga n’akatale wekali.Ekyo wekigwa zimba ekiyumba ky’endiga ekigazi okusobola okukuuma ensolo zo okuva eri embeera y’obudde gy’otetegekedde. Era akasolya k’ekiyumba kalina okuba ku kipimo kya fuuti 6 okuva ku ttaka era nga kiriimu awayitwa empewo awamala kiyambe ku ntambuza y’empewo ennungi.
Endabirira y’endiga
Kakkasa nti ensolo oziwa amazzi agamala,ebyongera ku biriisa nadala ng’ensola ziyonsa okusobola okufuna ebiriisa .Mu kugattako,kakkasa nti ensolo zo zizaala mwezo ez’ekikula ekirungi.
Kakkasa nti ofuna omuwendo gw’abakozi abetaagisa ku faamu okusobola okufuna amakungula agawera.Mu kufundikira,ggema ensolo zo mu budde okusobola okwewala obulwadde.