Obulunzi bw’endiga bufuna nnyo,ate era ennyama yazo ewoma ,erimu ekiriisa era evaamu ensimbi eziwera.
Endiga nyangu nnyo okulunda era okutandiika faamu yazo kyetaagisa okwetegeka obulungi.
Bulijjo kyamugaso nnyo oku kuuma ekiyumba nga kiyonjo ate nga kikalu okusobola okwewala obulwadde obuyinza okumeruka wo awamu n’okukakkasa nti ekiyumba kitambuza bulungi empewo era nga kirimu n’ekitangaala.
Mu kugatta ko ,ensolo ziriise emmere ennungi eri ku mutindo.
Ebigobererwa mu kutandiika
Tandiika nakulonda ekiffo ekigwanidde okuteekamu faamu nga amazzi mangu okufuuna,entambula nga weeri n’akatale.
Oluvannyuma zimbawo ekiyumba ekigazi ekyeyawudde okusobola okuzikuuma okuva eri ensolo n’embera y’obudde gy’otetegekedde.Mu kwongerako,akasolya k’ekiyumba kalina okuba ku fuuti 6 okuvva ku ttaka era nga kirina awatambuza empewo obulungi kisobole okuba n’empewo emmala.
Endabirira y’endiga
Era kakkasa nti nti ensolo oziwa amazzzi aggamala,emmere eyongera ku biriisa n’okuyonsa okusobola ookufuna ebiriisa.
Mu kugatta ko,ensolo ziwakise n’ezo ezikula obulungi.Era ofune abakozi abamala ku faamu yo okusobola okukungula ekiwera.Mu kusembyayo,ensolo zigemese mu budde okusobola okwewala endwadde.