Ebirungi by’enkoko enansi
Ebiseera ebisinga, ebinyonyi ebimansi byagalibwa abalunzi kubanga bigumira obulwadde wamu ne’dya. Okugatako, enkoko enansi zifuna mangu ebiriisa mu mere wamu nokwenonyeza emere kulwazo wabula kikubirizibwa okuzongerezako emere wadde nga zerunda zoka.
Okutabula emere
Tandika nga opima kilo 34 eza soya, kilo 8 eza mukene, kilo 10 eza bulandi, wamu ne kilo 6 eza layimu. bwomala osekule ebirungo ebyo nga byawule omale obitabule bulungi. Bwoba omaze okutabula emere tabula emere egya okumalawo omwezi okusobola okukuuma omutindo.
Okugatako, bwoba otabula emere, goberera enkola entuufu okusobola okutekateka obulungi wamu nokwewala okwonona emere.