Muwogo alimibwa nnyo buli mwaka mu biffo ebirimu enkuba olw‘ekiriisa kyalimu ekiwa omubiri amannyi.
Muwogo asimbibwa nga weyambisa emitti era akula bulungi mu ttaka ery‘enjawulo ne mu mbeera z‘obutonde ez‘enjawulo.Asobola okusimbibwa yekka oba osobola omutabinkiriza n‘ebirime ebirala nga kasooli,ebinyebwa,enva endiirwa n‘omuceere ogukulira waggulu.
Mu kussa akawuunga ,muwogo akunguddwa asunsulwa mu ngatukozesa amaaso gaffe netujjamu oyo abeera yayononeka.
Olumalaa ekyo,muwoggo awattwa era nayozebwa bulungi mu mazzi agatukula.
Okuwalakata n‘okukaatusa muwogo
Muwogo awatiddwa akendezebwa mu bunenne nga tumuwalakata. Ekyuma ekikuba kiikozesebwa mu kussa ensaano ewewera era eri ku mutindo.
.Muwogo awalakatiddwa atekebwa mu bukutiya era nasibwako. Obukutiya obusibiddwako bunyigibwa amayinjja oba okozesa ekyuma ekinnywa amazzi okujjamu amazzi agasusse ookumala ennaku 2 ku 3 nga w‘akaatuuka.
Okukalirira n‘okutereka muwogo.
Entuumo yamuwogo ejiddwamu amazzi era nga e kaatuuse bulungi,ekolwamu obutuumo obutono nga tukozesa engalo wano ebikaluba byonna bijibwamu
Entuumo era ojisa mu kalobo ak‘ekyuma era n‘ojikalirira
Akawuunga ka muwogo akawedde kateekebwa mu bukutiya.Obukutiya bunno buteekebwa ku loole nebutwalibwa mu katale oba ne buterekebwa.