Okulima obutunda kuliko amagoba mangi era busobola bulungi okuwa ensimbi bwobulabirira obulungi. Era obutunda kimera ekiranda nolwekyo okubulandiza n’okusalira bikulu okusobola okufuna obutunda obungi obulamu.
Okugattako, okufuna amakungula agasaniide tokirira mitunsi nobutabi okumeruka ku tabi erisooka era okakase nti ekikolo kyona kifuna ekitangala n’empewo okusobola okumulisa. Okwongerako, olina okusalira mu budde kubanga kiyambako mu kumulisa amngu.
Emitendera egirimu
Tandika nga osimba enkondo nga zirina amabanga hga 3m okweyawula era 3-6m wakati wa layini era osimbe obutunda mita 6 okuva kukiolo okutuuka ku kirala okusobozesa okufuna ekikolo obulungi.
Ekyokubiri, endokwa zirandize nga ziwezeza 1m obuwanvu, lekako endokwa emu okukula era emutunsi emirara egimera ogisalire wamu n’amatabi.
Okugattako, kutulako olulimi singa etabi ekulu lituuka ku katimba era osalire bulungi amatabi amalala galeme kwetolola tabi ekulu.
Ekisembayo, salako amatabi 3 amakadde buli luvanyuma lwa makungula okusobozesa amatbi amapya okumera era ogyemu endokwa enfu nga osalira.