Okukuluguka kwettaka kwamanyi nnyo mibifo by‘buserengeto. Layini z‘omuddo ezisimbibwa ku nsalosalo okukendeeza ku sipiidi amazzi kwegaddukira, ookuyamba n‘okukkiriza amazzi okukka muttaka n‘ekisobozesa ettaka okusigaza obugimu neriba ggonvu.
Osobola okweyambisa omuddo ogwenjawulo naye okusinga weeyambise ogwo ogutavuganya nabimera ate nga guvaako ensigo ntono. Bwekitaba ekyo leka omuddo omunnansi.
Okutondawo layini zomuddo
Layini z‘omuddo osobola ozikola ng‘osimba ensigo z‘omuddo oba ngokozesa ebitundutundu by‘omuddo omukulu. Layini z‘omuddo zisobola okolebwa layini satu sentimita abiri okuva kulayini emu okuda kundala. Bweweyambisa omuddo omukulu guteme mu bitundutundu bya sentimita 20 otemeko ekitundu ekyawagulu ojjeko n‘obulokwa nga tonnasimba. Weeyambise A-frame okutereeza ensalosalo era osime ebinnya mu mabanga ga ssentimita 10-20 nga bwodiringanya olunyiriri olwasoose ku lwokubiri.
Hedge rows ( ebisaganda by‘omuddo ogusimbiddwa) birina okuba mu mabanga ga ssentimita abiri ku museetwe ate mita kumi kukaserengeto namabanga mu nnyiriri z‘omuddo zirina okujjuzibwa buli kadde kuntandikwa ya sizoni ey‘enkuba. Omuddo gulina okukungulibwa ng‘emmere y‘ebisolo ne byenyanja eyokutereka.