Nga twogera ku nsimbo eziriko emirandira, zisobola okusimbulizibwa mu bisuwa nga zaakatuusibwa, so nga ensimbo ezitalina mirandira zisaana okusooka okumera emirandira nga tezinnaba kusimbulizibwa.
Amateeka agagobererwa okufuna ebimera okuvudde ensimbo geegano wammanga; ekisooka, ensimbo zirina okuba n’obunene obwenkana obw’ekkalaamu. Ensimbo zirina okubeera waakiri n’amakundi abiri engeri gye kiri nti emirandira gijja kumera nga giva mu makundi ago mu kintu ensimbo mwe zinaaba ziteereddwa, wamu n’ebikoola n’ebibikwatak byonna bijja kumera biva mu kkundi erya waggulu. Era, kozesa ekirungo ekireeta emirandira okwanguya ku kumera kw’emirandira awamu n’enkula yaagyo. Ensimbo erina kuba n’obuwanvu waakiri bwa ssentimmita kkumi nga erina ekikoola gy’esembera. N’ekisembayo, laba nga ensimbo ozisimba amangu ddala nga waakazisala.
Okukula kw’emirandira n’okusimbuliza
Okusimbuliza ensimbo kukolebwa singa emirandira emirungi gibeera gimeze nga n’ensimbo zigumye. Ensimbo zisooka kulekebwa mu mmerezo erimu oluzzizzi okumala wiiki nnya. Ensimbo bbiri zisimbibwa mu kasawo kamu okwongera ku mikisa gy’ensimbo ezo obutafa.
Okusimbuliza okuzza mu bisuwa ebya liita ekkumi era okukomola obuti obwo mu ngeri gy’oyagala kikolebwa luvannyuma lwa wiiki ezikunukkiriza mu kkumi n’ennya. Ebisuwa bino bijjuzibwa ebigimusa ebivudde mu bikoola by’emiti n’ebigimusa ebirala.
Emitendera egy’enkizo
Nga osimba ensimbo zino, kikulu okulaba nti ebikoola by’ensimbo eziriraanaganye tebikwatagana, anti kyongera kuleeta ndwadde za lukuku awamu n’okuleeta obuwuka obusirikitu obuyinza okuzoonoona. Era jjukira okunnyika ekitundu ekya wansi eky’ensimbo mu kirungo eky’obuwunga nga tonnaba kuzisimba mw’oyagala zimerereko emirandira.
Obudde obulungi okusaliramu ensimbo by’ebiseera eby’obudde obuweweevu era ozitereke mu bifo ebirimu olubugumu okwanguyiza ku kukula kw’emirandira wamu n’okuziyiza okuggwa kw’amazzi mu mmerezo erimu oluzzizzi.
Ebiteekebwa mu bisuwa
Ebiteekebwa mu bisuwa mubeeramu ebigimusa ebikoleddwa mu bikoola n’ebitundu by’ebimera, omusenyu wamu n’obuyinja ekika kya perlite. Ebigimusa ebisaamusaamu biteekebwamu okwongera okwanguya ku kukula wamu n’okukolebwa kw’emirandira n’ebikoola. Ebisuwa bino biteekebwa mu katimba akaleeta ekisiikirize okwewala okwonoonebwa nga kuva ku nkuba eyitiridde oba omuzira. Akatimba era kayamba okubikka ebimera ebito obutoonoonebwa musana ogw’amaanyi.
Okufukirira ebisuwa ebyo kikolebwa omulundi gumu mu lunaku nga okozesa enfukirira ey’okumansira. Okuzingira awamu, nga okumera okupya bwe kugenda mu maaso n’amaanyi, ekimera kirina okugenda mu maaso n’okusalirwa okukikuumira mu mbeera ey’omutindo.