Okusimba molinga nga okozesa ensimbo

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=2NL3hxMjC-c

Ebbanga: 

00:03:44

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agriculture Academy
»Mu katambi kano, tujja kulaba ennima ya molinga nga osimba nsimbo. Akatambi we kanaggweerako olina okuba nga otegedde bulungi ennima ya molinga nga osimba nsimbo «

Okusimba molinga kwangu nnyo nga okozesa nsimbo. Okusimba ebirime nga okozesa nsimbo kulina emigaso ebiri egy’enjawulo. 

Engeri esooka ey’okukozesa ensimbo y’eyitibwa clonal, nga muno mubeeramu okumeza ebirime nga okozesa nsimbo. Kino kitegeeza nti ekimera ekito kijja kubeera n’enneeyisa y’emu nga ekimera okwava ensimbo bwe kyali kyeyisa. Mu nneeyisa eyo mulimu emisinde kwe kikulira, endabika yaakyo mu kukula, amakungula agasuubirwa obugazi bw’ebikoola wamu n’eminyololo omubeera ebibala. Engeri eyookubiri y’eyitibwa shortened juvenile phase, nga kino ky’ekiseera mu kukula kw’ekimeraekimera we kibeerera ekito ennyo nga tekisobola kumulisa wadde okuleeta ensigo.

Okumeza ensimbo 

Ebirungi ebiri mu kubeera n’ennimiro ya molinga nga okozesa ensimbo mulimu; ensimbo zonna okumerera okumu, amakungula agasobola okuteeberezeka, okukula okw’awamu nga ebimera biyambibwako ekirungo kya growth tempo ekikuza ebimera, wamu n’okukendeera kw’ebbanga wakati w’okusimba n’okuteekako ebibala. 
Era, molinga asobola okulimwa nga okozesa ensimbo eziteekeddwa obutereevu mu ttaka mu nnimiro, oba okumulimira mu mikebe mw’osimba ensimbo.  

Ensimbo ezisimbiddwa obutereevu mu nnimiro

Okuteeka ensimbo obutereevu mu ttaka mu nnimiro kuteekwa okukolebwa mu mbeera y’obudde ennungi awamu n’embeera ennungi ezisibozesa okumera, oba n’okwongerezaako okufukirira mu biseera by’omusana omungi. Ensimbo ziba ziweza obuwanvu bwa ssentimmita wakati w’asatu n’ataano n’obunene nga waakiri buli wakati wa ssentimmita ssatu n’ettaano. 
Ensimbo zisimbibwa butereevu mu nnimiro enteeketeeke era ne zikuumibwa nga we ziri waweweevu, okutuusa lwe zireeta ebikoola n’emirandira. Okutemaatema ekirime okufuna ensimbo kuteekwa okukolebwa mu biseera ebirime mwe bikulira era ensimbo ozifune ku kimera ekiramu obulungi.

Ensimbo ezisimbiddwa mu mikebe

Ensimbo ezisimbwa mu mikebe ziba ntonotono era ziba zirina obungi kwe zikoma. Ensimbo zirina okuba n’obunene obutasukka ssentimmita emu, era ensimbo zirina okuba n’obuwanvu obuli wakati wa ssentimmita abiri n’asatu. Ensimbo zirina okusimbibwa mu ttaka eririmu ebigimusa bya coir ebitundu ana ku buli kikumi, ekigimusa kya peat ebitundu ana ku buli kikumi, wamu n’ebitundu abiri ku buli kikumi ebya vermiculite. 
Ekirungo ekimeza emirandira kisobola okuteekebwa omusimbiddwa ensimbo okwanguya ku kumera kw’emirandira. Nga omaze okuteekamu ensimbo, emikebe oba ebisuwa biteeke mu kifo ekibikke kyokka nga kirimu ekitangaala okusobola okukuuma obuwewevu mu bisuwa. Jjukira okugumya emirandira gy’ebimera ebito nga obiteeka mu musana nga tonnaba kubisimbuliza kubitwala mu nnimiro.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:30Molinga asimbwa mangu nga osimba nsimbo.
00:3101:03Ensimba y'ebirime ey'okukozesa ensimbo etegeeza nti ekimera ekito kijja kufaanaganira ddala ng'ekimera ensimbo kwe zaggibwa.
01:0401:41Omutendera ogumanyiddwa ng'ogw'obuto ky'ekiseera mu kukula kw'ebirime, ekimera we kibeerera nga kikyali kito nnyo okumulisa oba okubala ensigo.
01:4202:13Molinga asobola okulimwa nga okozesa ensimbo eziteekeddwa obutereevu mu nnimiro oba nga oyita mu kusooka okuzisimbako mu mikebe oba ebisuwa.
02:1402:49Ensimbo zisobola okuwezaako obuwanvu bwa ssentimmita wakati w'asatu n'ataano era nga zirina obunene bwa ssentimmita waakiri wakati w'essatu n'ettaano.
02:5003:44Mu kulima okw'okumereza ensimbo mu mikebe oba ebisuwa, teekamu ekigimusa kya coir ebitundu ana ku buli kikumi, ekya peat ebitundu ana ku buli kikumi, n'ebitundu abiri ku buli kikumi eby'ekirungo kya vermiculite.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *