Embeera y’obudde ekyukakyuka,okusimba emitti ku kubirizibwa nnyo era waliwo ebintu by’olina okusaako essira okusobola okufuna amagoba agawera okuva mu kibira.
Waliwo eby’okugannyulwamu ebiwera byosobola okufuna mu kulabirira emitti obulungi mulimu,okulongoosa ku bulamu bw’ekirime,ky’ongeza ku bugimu n’obugumu bw’ekirime,kw’ongeza ensimbi,n’okukuuma ebisolo by’omunsiko ngabiramu okumala akaseera akawanvu ddala. Ku ludda olulala emitti egitalabiriddwa bulungi girumbibwa ebiwuka,obulwadde,era gifuumulwa empewo oba negiffa olw’emyaka.Ebibira ebitalabiriddwa bulungi bivaamu nku zokka.
Endabirira y’emitti
Ekintu ekisinga okuba eky’omugaso nnannyini ttaka kyakola nga tanatunda mitti kwekufuna alabirira emitti.Omulabirizi w’emitti asobolwa okufunibwa okuva ku mutimbagano.
Omulabirizi w’emitti amannya obungi bwaggyo era asobola okumannya ensimbi emitti mwegiddya,akola enteekateeka y’okukungula n’engeri y’okulabirira mu emitti,ateekateeka akatale kabaguzi era nalambula omutendera gw’okuttema emitti.Binno bikolebwa ku kipimo ekitono eky’okutunda.
Omulimu gw’alabirira emitti
Omulabirizi atambula mu kibira n’amannya obungi bw’emitti,azuula emitti egyakula gyoka n’ekitundu awalina okukungulwa.
Gwe n’omulabirizi w’emitti mulina okola enteekateeka y’okukungula n’okulabirira mu emitti era nga kunno kubaako okuzuula emitti egy’okutemebwa oba emitono,ebiffo ebirimu ebisolo by’omunsiko eby’okukuuma oba okulongoosa,ebiffo by’okugulawo ng’ekubo n’ewokutemebwa.
Alabirira emitti alina okwogera n’abaguzi era nakaannya bulungi nabaguzi ku lulwo.Okuttema nga kuwedde,nannyini ttaka asobola okulaba ensiimbi ennyingi zafuna mu mitti gy’attemye.
Omulabirirzi w’emitti addamu ne yekkaannya emitendera gyonna era n’akola enteekateeka yebinabeera mu maaso.