Emiti giyina emigaso mingi mubutonde era ky’amugaso okusimba emiti.
Emiti gitwaala ekika ky’omuka oguyitibwa carbon dioxide okuva mu bwengula, giwa ebitondo by’omusiko aw’okusula wamu n’ekisiikirize. Nga oteekateeka okusiimba emiti, lowooza kukirubirirwa kyo oba osimbayo emiti mitono okuliraana amakaago oba okujuliza ekibangirizi mukibira era nebanga aw’okusimba emiti. Kino kuyamba okukola okusalawo okurungi.
Okusimba emiti
Mukusimba emiti, ekifo nsonga nkulu nnyo gy’oyina okuteeka munkola. Simba emiti nga tegy’erinaanye ate nga tegirinaanye bizimbe.
Mukusimba, kozesa ebikozesebwa ebituufu okusobola okw’anguya okusimba. Bwoba nga oyina emiti mitono egy’okusimba oba mukalobo, omwiiko gyegusaanide okukozesebwa okusima ebinya naye singa oba nga oyina emiti mingi egy’okusimba, omwiiko ogwenjawulo ogukozesebwa okusimba emiti gweguba omutuufu ogw’okukozesa kubanga guno musongovu ekimala.
Okusimba, sindika omwiiko muttaka era okukwaate nga gukutunuulide. Linya kunsonda y’agwo era osindike muttaka.
Enkuuma
Oluvanyuma lw’okusimba, kkatira okw’etoloola omuti okusobola okugukwaasa.
Mumyaaka egisooka emitonotono, gezaako okukuuma omuddo oba ebimera ebiteetagibwa okuva ku mirandira gy’endokwa era singa oba nga w’eralikiride ebimera by’omunsiko okulya endokwaazo, teekamu ebipiira ebimu okusobola okubitangira okuva eri ebisolo. Omazzi g’amugaso eri okukula era bwekiba kyet’agisiza fukirira endokwa ezisimbidwa.