Okulonda ensigo eziri ku mutindo, enkola y’okuteeka mu bimera ebika by’obuwuka ebituufu ebyongera ekirungo kya nitrogen mu mirandira, okubiwa amabanga agamala n’okuteekamu ebigimusa byamugaso nnyo mu kusimba ebijanjaalo bya soya.
Oluvanyuma lw’okutegeka ettaka, kakasa nti ofuna ensigo ezikakasiddwa okuva mu batunzi bw’ensigo oba ensigo ezaaterekebwa okuva mu lusimba olwagwa singa oba tosobodde kugula nsigo zikakasiddwa naye n’okozesa ensigo ezaaterekebwa kakasa nti ozikyusa buli luvanyuma lwa myaka 3 zisobola okusigala nga ziri ku mutindo. Ennaku 15 nga tonaasimba, kebera ensigo era ozikube ng’ozisimba obuwuka obwongera ekirungo kya nitrogen mu mirandira.
Ebigobererwa
Ebijanjaalo bya soya byongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka n’obuwuka nebunyikiza okwongera ekirungo kya nitrogen mu mirandira era kisingako okusimba ebirime eby’empeke mu sizoni eddako. Okuteekamu obuwuka mu bimera kya layisi nnyo okusinga okugula ekirungo kya Urea n’okuteekamu obuwuka obwongera ekirungo kya nitrogen mu mirandira, teeka kilo 15 ez’ebijanjaalo bya soya mu kikebe era okibike, gattamu obusanikira bwa mazzi 6 ensigo zisobole okuweeweera, gattamu obuwuka obwongera ekirungo kya nitrogen obuweza 75g awo obitabule.
Bikkira ekikebe mu kisikirize okumala essaawa emu ensigo zisobole okukala era ozisimbe mu ssaawa emu oba bbiri oluvanyuma lw’okuziteekamu obuwuka obwongera ekirungo kya nitrogen. Kakasa nti weetegese okuzisimba oluvanyuma lw’okuziteekamu obuwuka.
Simba ebijanjaalo bya soya enkuba ng’emaze okutonya nga ettaka lirimu amazzi ne kumakya oba akawungeezi okwewala akasana okuzikubamu kuba akasana katta obuwuka obwongera ekirungo kya nitrogen. Okusimba kulina kukolebwa mu layini enterevu obulungi nga mu nyiriri olekamu amabanga ga 60cm ne 5cm n’ensigo emu mu buli kinya oba 60 ku 10 n’ensigo bbiri mu buli kinnya.
Okusimba ebimera eby’enjawulo kusobola okukolebwa nga osimba ebimera eby’empeke naye okusinzira nti ebijanjaalo bya soya tebikulira bulungi mu kisikirize, birimire mu nkalala. Okulima ebimera eby’enjawulo kusobola okukolebwa mu nnimiro eteegekeddwa obulungi eya muwogo.
Okuteekamu ekirungo ekingi ekya nitrogen kiziyiza okuteekebwamu kw’ekirungo kya nitrogen mu ngeri y’obutonde n’ekireetera omuddo okumera naye ekirungo kya phosphorous kyongera ku makungula nga kizimba emirandira n’okwongera ku kirungo kya nitrogen