»Okunoga n‘okukaza emwanyi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=IeoGxSGmC2Q&t=175s

Ebbanga: 

00:09:44

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Uganda Coffee Platform Extension Videos
»Cafe Africa Uganda«

Endabirira enungi ey‘emwanyi bikulu nnyo okusobola okufunamu ekiwera. Okunoga n‘okukaza emwanyi by‘ebintu ebibiri ebikolebwa ebisalawo sente zofuna bwoba okwasaganya obulimi bw‘emwanyi.

Okunoga kyekimue ku mwanyi za Arabica ne robusta. Olina kunoga ezo zokka ezengenderedde ddala. Tonoga ezekibugwe era bwoba onoga, tosusumbulako ekikuta kubanga kino kikosa empeke era kireka enkovu ku muti awayita obulwadde. Okunoga emwanyi eza kiragala kukendeeza omutindo gwe mwanyi. Empeke enzirugavu ziba zikuzze neziyitawo era nazo zikendeeza omutindo gw‘amakungula okutwaliza awamu.

Enkwata nga omaze okukungula

Bwoba okungula, kirungi nokozesa obudeeya obuyonjoolwo bwoba onoga, empeke neziggwa ku kadeeya mukifo kyokugwa ku wansi ku ttaka. Bwoba okozesab bulobo, nabwo bulina okuba obuyonjo nga bukalu.

Nga omaze okukungula, Emwanyi enyengevu zikazze nga toziteeka mu ttaka, zikalize ku matundubali oba obudeeya. Okuzikaliza ku ttaka ekkalu kikosa empooma era kireeta nokumera obukuku/empumbu. Bwobera ozikaza, empeke zanjale bulungi nga tezisuka 3cm okwetuuma era obeere nga ozanjalayanjala okukakasa nti zikala bulungi zonna.

Ekiro oba enkuba bweba eyagala kutonya, emwanyi ziyingize era ozanjale ku nkokoto enyonjo oba ku budeeya. Oyinza okuzizinga mu matundubaali enkuba bweba ezze.

Abaguzi bo baffa ku bukalu bwa mpeke kwosa n‘omutindo. Obukalu bw‘emwanyi busobola okukeberebwa nga okozesa ekyuma ekipima obungi bw‘amazzi, okuluma mu mpeke oba okuzisalamu wakati.

Entereka y‘emwanyi

Nga zimaze okukala. empeke z‘emwanyi zirina okuterekebwa mu busawo obuyonjo. Sitoowa erina okuba nga nkalu, nga eyitamu empewo bulungiate nga tetonya. Mu nda mu sitoowa, ensalo z‘emwanyi zirina okuba nga tezituridde ddala ku ttaka nga ziri ku lubawo okwewala okusika obunyogovu okuva mu ttaka.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:09Okunoga n‘okukaza emwanyi by‘ebintu ebibiri ebikolebwa ebisalawo sente zofuna bwoba okwasaganya obulimi bw‘emwanyi.
01:1002:46Bwoba nga okungula olina kunoga ezo zokka ezengenderedde ddala.
02:4703:16Empeke enzirugavu ziba zikuzze neziyitawo era nazo zikendeeza omutindo gw‘amakungula okutwaliza awamu.
03:1703:59Nga omaliriza okukungula, olina okunoga empeke enzirugavu n‘ento okukomya okutambuza obulwadde,
04:0004:18Bwoba okungula, kozesa obudeeya obuyonjoolwo oba obulobo obuyonjo.
04:1906:10Emwanyi enyengevu zikazze nga ozigye wansi ku matundubali oba obudeeya.
06:1107:04Ekiro oba enkuba bweba eyagala kutonya, emwanyi ziyingize munda.
07:0507:48Zikazze paka nga zisigaza oluzzizzi lwa 11-13% oba nga obwetaavu bw‘omuguzi oba Gavumenti bwebuli.
07:4908:40Nga zimaze okukala, emwanyi zitereke mu sitoowa enkalu, nga eyitamu empewo bulungiate nga tetonya.
08:4109:44Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *