Buli lwewewala katonnyeze mu kasooli oba ogemye amakungula okwokyebwa. Katonnyeze bulwadde bwa fungi, aviraako okufirizibwa okwamanyi mu makungula ga kasooli. Osobola okubutegera bwolaba obutonnyeze obuddugavu wagulu kubikoola bya kasooli. Obutonnyeze buno bwetoloolwa ekizigira ekitangaavu okwefananyirizaako eriiso lyekyenyanja. Ekirwadde bwekyeyongera ekikoola kibabuka nga kitandikira muntobo wekirime nekigenda nga kirya kyambuka okutuusa ekirime bwekisanawo.
Katonnyeze asobola okuvunza ekisoolisooli. Ekirwadde kino kitandika okukosa kasooli nga yakaweeka okutuusa lwawanga mu empeke. Ekirwadde kino kitera nnyo okwegirisa munnaku 20- 50 nga kasooli asimbiddwa. Kasooli asinga kukosebwa nyo nga muto.
Obudde obunnyogovu ne‘kirwadde kino
Ekirwadde kino kisasaana nnyo mumbeera y‘obudde obunnyogovu naddala mu kiro ne kumakya. Ekirwadde kino kisobola okukosa mwaka ku mwaka naddala singa olekamu ebisoolisooli ebyakosebwa ekirwadde munnimiro.
Okulwanyisa katonnyeze
Bwoba walwaza katonnyeze omwaka ogwayita osaana oyokye ebisoolisooli nga tonnasimba mwaka guddirira. Mu bitundu ebirala siga nga bukyaali osobole okugema ekirwadde kino. Okwewala ensasaana y‘ekirwadde kino wewale okusimba kasooli mwaka ku mwaka munnimiro yemu. Osobola okusimbamu ebirime ebirala nga; ebijanjaalo, mucuna. Gezaako okusimba ensigo ey‘embala esobola okugumira no‘kugumira ekirwadde kino.
Bwozuula ekirwadde naye ng‘ebikoola bikyali biramu fuyira neddagala lya fungicide.
Tandika okufuyira nga wakalaba obutonnyeze kuba ebikoola bwebimala okweyokya okufuyira kuba tekukyalina mugaso.