Enkoko za Kroiler zirina obusobozi okw‘enonyeza eky‘okulya era nga kino kiyamba okukendeeza ku sente ezisasanyizibwa ku mmere. Enkoko za kuroiler zasibuka mu gwanga lya buyindi.s
Ekirala enkoko za Kuroiler zatunzi nyo kukatale, zirina obusobozi okulwanyisa endwadde wamu n‘okugumira enkyukakyuka mumbeera yo budde. Enkoko zino buli mwaaka zibiika amagi wakati we 150 ku 200. Enkoko za kuroilers zifuna nyo kubanaga zibiika, ennyama yaazo erimu ekiriisa ate nga ziriko emirimu eri abavubuka okusobola okweja mubwavu. Kyamugaso okuleka enkoko okutayaya olwo gwe n‘ozirikiriza olwegulo nga zikomyeewo. Enyama oba amagi ebiva munkoko za kuroiler singa bifumbibwa bulungi birimu ekiriisa kyingi nadala eri abaana abato.
Ebigobererwa mukulunda
Kakasa nga ogula obukoko nga buwezeza wiiki 2 oba 3 ate nga bugemeddwa okuva kubatunzi abesigika okusobola okwewala ogugula obukoko obulwadde.
Ekirala wetanire nyo okulongoosa ekifo enkoko wezikumirwa buli lunaku wamu n‘okukyusa obukuta kisobozese enkoko okula obulungi mukifo ekyeyagaza era ekiyoonjo.
Mukifo enkoko werundibwa tekamu ebisu enkoko kwezibiikira era faayo nyo okukungaanya amagi buli lunaku.
Enkoko zireke zitambule z‘enonyeze eky‘okulya awo oluvannyuma olyooke ozirikirise. Kakasa nga ekifo enkoko wezibeera kikuumibwa nga kiyoonjo okusobola okwetangira endwadde. Ekisembayo oluvanyuma lw‘ebanga mukiyumba gulayo enkoko endala kubanga enkoko za kuroiler buli lwezikula zibeera tezikyavaamu makungula bulungi.
Okufuna sente mu nkoko
Enkoko zireke zitambule okusobola okwenonyeza ekyokulya oluvannyuma ozirikirize nga zikomyewo olwegulo kuno kikendeeza ku sente ezisasanyizibwa okugula emmere.
Tunda amagi wamu n’enkoko ezikuze obulungi mu budde osobole okuzaawo sente ezisasanyiziddwa mu kulunda.
Enkoko zitundire wamu mu kibinja osobole okufunamu sente ezegasa.