Obulami bwebisolo kikulu nnyo okusobola okukola obulungi. Ebigamba bino bikuwa ekifananyi, ddi lwokozesa ddagala ki mu mbuzi ezikamibwa.
Okukuuma eddagala eryenjawulo ku faamu n‘omulunzi kikendeeza ku muwendo ogufa, kikendeeza ku sente ezandisabidwa omusawo webisolo era kikuwa omukisa okuwa ebisolo obujjanjabi obusokerwako mu budde nga bwetagisiza.
Eddagala lyoku faamu
Nga eddagala bweryetagibwa ku faamu y‘embuzi okutereza ebizibu by‘obulwadde, kwatagana nabakugu mu byebisolo. Wekumireko eddagala ly‘obuwuka (antibiotics) nga oxytetracycline, tylosin okujjanjaba ebizibu by‘omumawugwe, gentamicin, penicillinku ndwadde nga arthritis.
Mu ngeri yemu, beera n‘empiso za sulphur okulwanyisa endwadde z‘ekidukano, empiso ezokujjanjaba amawugwe okugeza dexamethasone okukendeeza ku bulumi, anti helminthic okugeza ivermectin, paranex okwewala ebiwuka ebinuuna omusaayo, nebiwuka byomulubuto wamu ne vitamini okwewala obuzibu obuva ku ndya embi.
Okugatako, beera ne antiseptics okugeza hydrogen peroxide, potassium permanganate, alamycin, pawuda w‘ebuwundu ku maso n‘ekyuma ekijjanjaba ebbaanyi okujjanja ensolo ku faamu.
. Ekisembayo beera nebyuma ebikola okugeza ebiyizo, pamba, giravu nebirala okuyambako nga ojjanjaba.