Obungi bw’amakungula n’omutindo bifunibwa okusinziira ku mutindo gw’ensigo ogukozeseddwa mu kulima okugeza obukulu, oluzzizzi lw’ensigo n’ebika eby’enjawulo.
Olw’okuba ensigo kitundu ky’ekimuli ekyengevu ekikwasiddwa eky’ekirime ekimulisa omuli akatundu akasobola okumeruka okufuna ekirime ekipya, ensigo ez’omutindo omulungi zirina emikisa mingi egy’okumeruka era zirina oluzzizzi olutuufu era teziba na bizibu.
Endabirira y’ensigo
Nga ensigo y’omutindo emeruka mu kiseera ekituufu, enkaza y’obutonde oba etali ya butonde n’awaterekebwa awakalu bikulu eri omutindo gw’ensigo. Abalimi balina okutegeera obusobozi bw’okumera kw’ensigo okusobola okuleetawo okufaanagana mu nkula y’ebirime era mu kulonda ensigo, manya obusobozi bw’ensigo okumeruka, okutali bukosefu, ensigo ezifaanagana era ezitalina bulwadde obuva mu mmerezo, era nga tewali muddo ogwonoona ebirime era nga zituuse okusimbibwa.
Okufaananako, gezesa obusobozi bw’ensigo okumeruka omuli okukebera omutindo gw’ensigo nti zisobola okumeruka n’okukola ebirime ebigumu. Enkola z’okugezesa mulimu enkola y’okuteeka ensigo ku ssowaani (dish method), enkola y’okuteeka ensigo ku kagoye (rag doll method) n’enkola y’okuteeka ensigo mu bokisi.
Mu nkola y’okuteeka ensigo ku ssowaani, ensigo ziteekebwa ku ssowaani, okuli olupapula olulina oluzzizzi oba ppamba, ne zibikkibwa n’olupapula olubisibisi olulala. Ensigo zirekebwa okumeruka okumala ennaku eziwera era ensigo ezimeruse zibalibwa wabula mu nkola y’okuteeka ensigo ku kagoye, ensigo ez’okumerusa zibalibwa ne ziteekebwa bulungi ku kagoye akabisibisi ne kazingibwa, ne kateekebwa ku lusaniya era akati kateekebwa ku kagoye okusobozesa empewo okutambula. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, ensigo ezimeruse zibalibwa.
Ekisembayo, funa bokisi ey’obugazi bw’osobola ogijjuze ettaka ly’ennimiro oteekemu ensigo 100. Fukirira ensigo buli kadde ppaka nga zimeruse olwo ozibale omale obale ensigo ezimeruse zonna.