»Okulonda ekifo ky‘okulundiramu enjuki«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=7l5r1qaAhQ8

Ebbanga: 

00:06:37

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AgriFutures Australia
» Okusoma obulungi enjuki ezetongode n‘empya kijja kuwa amaanyi okumanyiira endabirila enungi ekintu ekyomugaso ennyo mukuwangaaza omulimu guno«

Okulunda enjuki mulimu ogufunira ddala era omubisi gw‘enjuki gulina emigaso ku bulamu mingi naye kirungi okuberako nobumanyirivu mu kulonda ekifo awokulundira n‘okulabirira enjuki nga tonaba kuwanika mizinga.

Wabula toteeka mizinga mu bifo webafuyira eddagala eritta ebiwuka, ebyuma bya sukaali n‘amakolero gemere n‘ebyuma kubanga enjuki zijja kugya emere mu bintu ebyo ebiwomerera. Omubisi ogusiinga okukolebwa guva mubiriridwa.

Ebigobererwa nga olonda ekifo

Wegendereze okufuna ekifo nga enjuki zibuukanga tezikalubirizidwa engeri enjuki ezikola omubisi nti zetaaga emere erimu ebirungo byonna okuva mu mubisi gw‘omubimuli, obwunga n‘amazzi. Mungeri yemu londa ekifo nga mulimu ebimera ebimulisa ennyo okusobola okuwa enjuki ekirungo kya nectar ekikozesebwa okukola omubisi

Okwongerako londa ekifo nga waliwo amazzi amalungi kuba omuzinga gumu guyinza okwetaaga liita za mazzi 4 buli lunaku mu budde obwomusana, emizinga zirina okutekebwa okumpi n‘ewaka okusobola okutambulawo amangu n‘okuzirabirira nga totekamu nnyo.

Mukwongerako, londa ekifo nga kyamusetwe okusobola okuzilondoola, okukyusa abakozi wamu nokulabirira emizinga okutwaliza wamu wabula nga wali mu kisikirize naye ebifo omubeera amataba, omuliro, obubbi, obukumpanya buyinza okubawo era birana okwewalibwa kubanga bikola kinene nnyo okukendeeza ku bungi bw‘omubisi.

Endabirira y‘enjuki

Beera nga olabiriza, olwanyise ebiwuka ebirala era emizinga ogiteeke ku mpagi nga kino kigobererwa kubeera nga okebera obuwunga n‘omubisi ebiva mu bimuli.

Ate era emizinga girina okutekebwa awatali bantu, obeere ne kkomo ku bungi bw‘emizinga era emiryango tegirina kuunula wava kitangaala kubanga kiyinza okukendeeza ku ngeri omubisi gyegukolebwamu, nemukusembayo kakasa nti wekkaanya ebimuli by‘omukitundu okukakasa nti ebimera n‘emiti tebirina biwuka binuunamu mubisi wamu nokutambusa obuwunga bwokubimuli.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:27Okulonda ekifo awalundibwa enjuki n‘okuwanika emizinga n‘endabirira
00:2800:51Emizinga giteeke mu bifo enjuki weziyinza okubukira nga tezifunye buzibu.
00:5201:27Londa ebifo nga birimu ebimera ebimulisa nga waliwo n‘amazzi amayonjo
01:2802:33Funa ekifo nga kiri kumpiko n‘ewaka. Londa ekifo nga kya musetwe.
02:3402:58Londa ekifo nga kiri mu kisikirize era wewale abifo awabeera amataba, omuliro, obubbi, obukumpanya buyinza okulabika.
02:5903:08Toteeka nyumba z‘anjuki ku milyango, walundibwa ebisolo, webakima amazzi oba webakampinga.
03:0903:34Tunulira era olwanyise ebiwuka ebiri mu kitundu n‘obukolwa.
03:3503:56Wewale ebifo byebafuyiramu eddagala ly‘ebiwuka, ebyuma ebikola sukaali n‘amakolero ge mere wamu ne byuma ebikola emmere.
03:5704:11Emizinga giteeke awatali bantu, gibeere gya kigero mu bungi era emiryango nga tegitunude wava kitangaala.
04:1204:49Beera nga okebera emizinga era wekenenye n‘ebimuli eby‘omukitundu.
04:5005:59Wewale okuliisa enjuki emmere enkolerere oba eddagala lya sukaali
06:0006:37Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *