Enkyukakyuka mu mbeera y‘obudde kitawanya nnyo abalimi era n‘ekikossa nnyo amakungula gabwe. Okukyuka kw‘embeera y‘obudde kiyiza okukendeeza ku makungula g‘ebirime eby‘empeke mu nsi yonna ebitundu ebiri wakati wa 10 ku 20 ku kikumi bwe bunaatuukira mu 2050 singa tewabeerawo kugguma mu nkyukakyuka.
Enkola ennungi ez‘obulimi n‘obulunzi zikwatagana n‘okwongera ku makungula ku faamu mu ngeri esobola okukuumibwa mu mbeera n‘abantu abaliwo.sMugwamu enkola ezikakasiddwa nga okubika ennimiro n‘okusimba ebirime ebiggumira omusana oba okwanjala kwa mazzi okusobola okukwatagana n‘enkyukakyuka mu mbeera y‘obudde.Okulimira mu mazzi agatabuddwa mu ebiriisa y‘emu ku nkola ennungi ez‘obulimi n‘obulunzi abalimi zebetanidde.Akakodyo kano kalimu okulimira ebirime mu mazzi nga tokozeseza ttaka naye nga okukula kwabyo kwesigamiziddwa ku kika n‘obungi bw‘ekirungo ekigatiddwamu.
Ekifo we balimira ebirime ebiri mu mazzi agatabuddwa mu mazzi agalimu ebiriisa
Enkola y‘okuteeka ebirungo mu mazzi eyitibwa Nutrient film tecnique(NFT) gyebakozesa mu kifo we balimira ebirime ebiri mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa. Kabeera kawatwa kampi nga kalimu amazzi agatabuddwamu ebirungo byonna ebyetaagisa ekimera okukula nga gayita ku mirandira gy‘ebimera. Amazzi gekuba gokka n‘akuuma akakuba amazzi okubunya ebimera.
Obupira obutono obuddugavu buyiwa amazzi mu bikebe ebirimu ekimera. Ebiriisa bigatibwa mu mazzi era byonna n‘ebitambuzibwa okutuuka ku kimera ekisembayo.
Emiganyulo egiri mu nkola y‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa.
Okozesa ekifo kitono nnyo naddala mu ku kizimba noolwekyo kikola nnyo mu bifo eby‘ekibuga, kino kikuuma amazzi agawera ebitundu 80 ku buli kikumi kuba amazzi baddamu ne bagakozesa.Okulima kutwala ekiseera kitono nnyo noolwekyo kyongera ku makungula, ennima eno nnyonjo kubanga tewetaaga kukozesa ttaka era ebimera bikula nnyo olw‘ebiriisa ebiba bikozeseddwa.
sEkifo kino kirungi nnyo mu kulima enva endirwa eza lettuce, brocolli,cauliflower, spinach, ne kales. Newankubadde wasobola okubaayo ekizibu ky‘ebiwuka n‘ebirala ebitawanya ebirime ebiyitibwa mites singa biba birimiddwa mu biyumba.
Embeera esinga obulungi.
Enkola ennungi etegekeddwa eyitibwa nutrient film technique, buli luwonko lulirina okubaamu wakiri obungi bwa mazzi bwa lita emu. Obuwanvu bulina okuba bwa mita eziri wakati wa 10 ku 15 kuba weziba empanvu zimalamu ekirungo kya nitrogen mu bimera
Okulimira mu kibuga kyetaagisa ettaka, ekigimusa, omuddo oba ebikoola ebikazze okusobola okubikka ettaka n‘amayinja okutandika faamu. Obumyu buliisibwa enva endirwa okuva mu faamu.Ekigimusa kikolebwa okuva mu busa bwa nte obuvunze era ne buteekebwa mu bukutiya.