Okulima omuceere: Okumerusa ensigo z’omuceere, okutekateeka enimiro, okusimba ensigo z’omuceere.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=pFbWbCYLKu4

Ebbanga: 

00:08:55

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
Olutambi luno lukwata ku Okumerusa ensigo z'omuceere, okutekateeka enimiro, okusimba ensigo z'omuceere.

Okulonda ensigo kikola ky’amaanyi mu bulimi bw’omuceere. Ensigo ezirondebwa okulimibwa zirina okuba nga zenkana obunene, obukulu, nga temuli bikyafu era nga zirina obusobozi okumera. 

Okwawula ensigo enungi ku nsingo embi, nyika ensigo mu mazzi, ensigo enfu zidda ku ngulu kw’amazzi, ate ensigo enungi okusimba zijja kuka wansi. Nga omaze okugyako ensigo enfu nyika enungi okumala esawa 10-12 olwo ozigye mu mazzi osibikire mu gutiya embisi. Bwomala ekyo damu ozinyike okumala esawa munana. 

Okumerusa ensigo y’omuceere

Ensigo zigemese obusa bw’ente okwanguya okumera. Funa 1/2 kya kilo y’obusa obupya wamu n’omusulo liita biri obitabulemu amazzi ga liita 5. Bwomala ozubitabula mu busa zireke zikale okumala esawa munaana. 
Ensigo ziba zimera.
Obungi bw’ensigo obwetagisa mu hactare y’ettaka erifukirirwa buli; bwekiba kika ekikual amangu: kilo 60-70, ekika ekitwala ebbanga eddeneko kilo 40-60 , ekika ekitwala ebbanga eddene ddala kilo 30-60 ate boba olinda nkuba simba kilo 85-100. 

Ebikolebwa mu kulima

Kabala enimiro okutema nokukubakuba ettaka mu bitundu oba okunkumukira ddala okusanira ensigo. Tuuma ettaka ku buwanvu obumpi okusobola okusasanya nokugonza ettaka wamu okugyamu omuddo wamu nolutabula emirungo mu ttaka. 
Kola obulimiro mu nimiro nga oyingiza mazzi mu nimiro z’omuceere okusobola okukuuma amazzi amangi okwenkana 5-10cm nga wakamala okulima. Okuyisamu amazzi kiyambalo okukubakuba ettaka wamu n’ebitole by’ettaka  ebinene. 
Seteeza enimiro y’omuceere otereze ensalosalo eziri mu nimiro okusobola okulimiramu obulungi. 

Engeri z’okulimamu omuceere

Enkola ey’okumansa wano nga okasuka ensigo n’emikono. Kisinga kukolebwa mu bifo ebibeera ebikalu nga ssi bigimu. Era y’enkola esinga obwangu nga yetaaga amanyi matono. Enkola e’yokusonseka mu ttaka wano nga enimiro ekabalibwa nga bwosimba ensigo z’omuceere era nga kikolebwa abantu babiri. 
Enkola ey’okusimbuliza ekolebwa mu bifo ettaka nga gimu nga n’enkuba etonyayo nnyo. Endokwa kikuzibwa okumala wiiki 4-5 mu beedi olwo nezisimbulizibwa.
Enkola eya ba  Japanerimu okukozesa ensigo ezibala ennyo nga osimba mu beedi eri waggulu olwo nosimbuliza endokwa mu layini okusobozesa okukoola ekyangu wamu nokusaamu ebigimusa. Kino era kiberamu okukozesa ebigimusa nga bingi okusobola okufuna amakungula amangi. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:37Okulonda ensogo.
00:3701:48Okwawula ensigo eyomutindo.
01:4902:55Okugyamu amazzi era nobika mu kutiya embisi.
02:5604:26Obungi bw'ensigo obusimbibwa mu buli hactare wamu nokukozesa ekirungo ky'obusa bw'ente.
04:2705:00Okumeza ensigo z'omuceere.
05:0106:23Ebikolebwa mu kulima.
06:2407:38Enkola ez'enjawulo ezokulimamu omuceere.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *