Oyster mushrooms kimu ku bika by‘obutiko obuliibwa era bweyambisibwa mu bulamu obwa bulijjo.
Obutiko buno bulimibwa kuttaka ttono era nga bwetaaga n‘essente ntono ate nga bwongera kunyningiza y‘amaka.
Okuteekateeka ennimiro y‘obutiko
Obutiko bulimwa ku bisejja n‘embaawo naye era ennimiro esobola okukolebwa mu bisigalira by‘ebirime ebirina emirandira egiriira kungulu noolwekyo osobola okweyambisa ebisoolisooli, ebikongoliro, ebisunku by‘ebijanjaalo, ebisigalira by‘ebinazzi, ekiddo, essanja ne byayi. okuteekateeka ennimiro y‘obutiko kikolebwa bw‘ekiti;
Sasaanya byogenda okulimirako obutiko kukiveera otabulemu amazzi, caccu oba akaloddo okwongera ku biriisa era gattamu amazzi agalimu layimu okukendeeza ku acid ali mu kalimiro. Oluvanyuma kebera obunyogovu obw‘ennimiro ng‘ojjikkatira n‘engalo.
Ssa ennimiro mu buveera. Osobola okukozesa obwa kkala yonna oba ekipimo kyonna naye tebulina kubaamu bituli, kkatira ebikola ennimiro okusobola okujjamu amabanga . Ekyo bwekiggwa, tunga ensawo.
Ggema ennimiro ng‘ojijjanjaba okumala essaawa 2, leka ennimiro ewole mumbeera obudde enyinyogovu.
Okusimba obutiko
Ssa ensigo munnimiro egemedwa otunge ensawo, lekawo akatuli katono empewo mwesobola okuyita. Ssa pamba annyikidwa mu ssipirii mukatuli ogeme okukyafuwaza obutiko.
Osobola okugula ensigo mumanonyerezo agebyekikugu (research institution) oba mu balimi b‘obutiko. Ebisawo bisse mubisenge ebikutte enzikiza ennimiro zisobole okukwaata.
Kebera ela sumulula ensawo olabe oba zikute bulungi. Ffuyiirako amazzi emirundi esatu olunaku ng‘okozesa ebbomba ey‘omukono okukendeeza ebbugumu n‘okwongera ku bunnyogovu.
Kungula obutiko bwonna okuva munnimiro okulwanisa ensowera, emmese namakovu.
kakasa nti obutiko buyonjo, oba ssi ekyo bujja kufa.