»Okulima nga w‘eyambisa nakavundira mu Africa«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=yM0HMl3qWHA&t=222s

Ebbanga: 

00:08:07

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2012

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Green Shoots
»Okuteekawo ekintu eky‘ongera kumutindo gwe ttaka okuva mu bisigalira mu nimiro mpaji nene nyo mukulima ebirime ebiri kumutindo ebisinga . Dorothy Duodu, okuva mu kampani etunda ebirime mumawanga egenjawulo, Blue Skies, y‘endagiriro ku ngeri abantu be Ghana jebakolamu n‘okukozesa nakavundira ku ttaka eddene. «

Ebisigalira okuva mu nimiro oba ebisigalira okuva mu makolero agakola eby‘eyambisibwa mukulima bisobola okukyuusibwa nebifuuka nakavundira mu butono, mukigero era ne mubungi ddala. Nakavundira wamugaso mukulima.

Nakavundira awa ebirime ekiriisa ate era n‘agata nekubungi bw‘ekigimusa mu ttaka eky;ogera ku nkuuma y‘amazzi mu ttaka olwo nekiwonya omulimi okusaasanya sente mukugula ekiveera eky‘okukozesa mukubikka.

Okukola nakavundira

Okukola nakavundira, w‘etaagisa ebikozesebwa omuli ebisigalira okuva mu makolero agakola ebikozesebwa mu kulima, obukuta bw‘emiti, kalimbwe, nekikozesebwa mukumenyaamenya ebisigalira bino naye bwoba tobiyina temaatema ebisigaliraabyo mubutundu tundu obutono.

Tuuma ebisigaliraabyo nga otandika n‘ebikalu wansi era n‘ebibisi kungulu. Kitwaala ebanga lwa my‘ezi ebiri kw‘esatu okubeera nga nakavundira awedde naye mumy‘ezi esatu, kyuusakyusa ebitabuddwa bulijo nga weyambisa ekitiiyo oba ekyuuma ekikyuusa okusinziira ku bunji.

Nakavundira bwaba nga attuuse okukozesa, muteeke ku ttaka okuliraana ekimera oba kikozese nga amajani ga nakavundira nga oteeka nakavundira mubukutiya era obusuule mu mazzi okumala ebanga lya naku musanvu ku kumi. Ekiriisa ky‘esengejja mpola mpola nga kiyingira amazzi, era amazzi negakozesebwa okuyiibwa ku birime. Amajaani ga nakavundira gayamba ekirime okugumira eddwade n‘ekyeeya.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:06Ebikozese mukukola nakavundira mulimu ebisigalira okuva mumakolero agakola ebikozesebwa mubulimi, obukuta okuva ku miti, ne kalimbwe.
02:0702:46Gatamu ebikozesebwa mu kukuba ebisigalira okufuuka nakavundira era bwoba tobirina, bitemeeteme mubutundu tundu obutonotono.
02:4704:08Kitwaala ebanga lwa my‘ezi ebiri kw‘esatu okubeera nga nakavundira awedde, sigala nga okyuuse kyuuse buli kaseera era kino kikuuma amazi mu nakavundira.
04:0905:10Okukozesa nakavundira kitaasa omulimi okugula ebigimusa.
05:1107:15Nakavundira muteeke ku ttaka okuliraana ekimera oba kikozese nga amajani ga nakavundira. Amajaani ga nakavundira gayamba ekirime okw‘ewara okulw‘anyisa enddwade n‘ekyeeya.
07:1607:45Ebisigalira ebikunganyiziddwa oba ebisunsuddwa bisobora okufuulwa eby‘omugaso okuyita mu kukola nakavundira.
07:4608:07Okusiima.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *