Muwogo akula bulungi mu bifo ebyolukalu, waliwo ebikubirizibwa okukola nga bimuyambako okukula obulungi.
Muwogo asumbuyibwa nnyo omuddo nga gumukonya kubanga gutereka ebiwuka n’endwaade wabula bwoba omukode bulungi buli wiiki 3 ku 4 nga wakamusimba nodamu ku wiiki 12 nomaliriza ku myezi 5-6 kiyambako okukendeeza ekizibu kino. Waliwo ebiwuka ebyenjawulo okugeza amayanzi, enkuyege, meaylybugs wamu n’amafukuzi kwosa endwadde nga cassava mosaic, anthracnose ne kiwotola.
Ebyetagisa okukula
Kakasa nti okoola bungi okwewala okuvunganya ku biriisa, amazzi, omusana wamu n’ekifo bwomala otekemu ekigimusa kya N:P:K 15:15:15 okwongera ku nkula wamu n’amakungula kubanga kikubirizibwa okukozesa ebigimusa ebyobutonde kubanga byongera ku bugimu muttaka n’okutereza enkula y’ettaka wamu n’obusobozi okuvaamu ekingi ddala.
Okwongerako, tangira ebiwuka nga okozesa emiti egigumira embera, ensingo enyonjo mu ntandikwa yokusimba, emiti emigate wamu nokulwanyisa endwadde nga osimba ebika ebiguma, emiti egitalina bulwadde londa ensigo okuva ku matabi mukifo gyekikolo, okusimba amanguokwewala okusanga obuwuka nga bwaludde nnyo, okulambulanga enimiro oluberera nogyamu ebirwadde n’ekisemabyo okutangira ebiwuka okusobola okufuna ekinene mu hacatre.