Okulima katungulu ccumu mutendera kumutendera

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=tBD-c8xS4Hk&t=151s

Ebbanga: 

00:04:28

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Business Ideas English
»Engeri enyangu ey'okutandikamu bizinensi y'okulima katungulu ccumu. Engeri y'okulimamu katungulu ccumu mutendera kumutendera ne sente ntono. Amagezi ga bizinensi ya katungulu ccumu omuli okuteekamu ekitono wamu n'amagoba amangi.«
Katungulu ccumu y’etaaga abakozi batono wamu ne sente, wabula obw’etaavu bwe buli waggulu ate nga afuna nnyo. Katungulu ccumu akulira mumbeera zobudde nyingi ezenjawulo.
Katungulu ccumu asimbibwa na mpeke era akungulwa wakati wennaku 135-150 oluvanyuma lw’okusimba. Bulijo ebikoola by’akatungulu ccumu byebifuuka kyenvu ekyo kiraga nti ekimera kituuse okukungula. mumbeeera ey’abulijo katungulu ccumu asinga kwagala bugumu lyakigero, ettaka egimu eliddugavu, ely’olusenyusenyu oba ely’ebumba kuly’okukula obulungi.

Okusimba

Bwoba osimba katungulu ccumu kozesa kilo 150-200 ez’empeke enamu obulungi okusiga ku yiika kumi nannya era okusiga kuyina kukolebwa mu nyiriri. Era empeke ziyina okusimbibwa kubuwanvu bwa cm 5.5-7.5 nga oludda olumera lutunude waggulu mumabanga ga cm 15 era obikeko ettaka tono. Mukweyongerayo, okusimba kuyina kukolebwa mumweezi gw’omukaaga okutuusa mugw’omusanvu oba ogwekumi okutuusa mugwekumi n’ogumu munyiriri zamabanga ga cm 15 era ofukirire kitono.

Ebigimusa n’okufukirira

Mukusooka, teeka kilo 20,000 zannakavundira omulungi mubuli yiika kumi nanya okwongeza kubugimu bwettaka. N’oluvanyuma, teeka kilo 60nez’ekigimusa kya NPK mubuli yiika kumi nanya era ennaku 30 oluvanyuma lw’okusimba teekamu kilo 10 ez’ekigimusa kya borax mubuli yiika kumi nanya okusobola okw’ongeza kubunene bwempeke. Kakasa nti ofukirira enimiro mangu ddala oluvanyuma lw’okusiga era tangira emiddo nga ogikuula nengalo. Nekirala, wetegereze ebiwuka n’enddwade era n’oluvanyuma lw’okukungula katungulu ccumu mukuumire mukisiikirize okumala ennaku 2-3. Ekisembayo jako ebikoola ebikalu, longoosa, ssunsula era osengeke katungulu ccumu.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:18Katungulu ccumu yetaaga abakozi batono era nesente ntono wabula obwetaavu bwe buli waggulu nnyo era nga afuna nnyo.
00:1900:47Katungulu ccumu asobola okukozesebwa nga eddagala era nemukutegeka emere. Avaamu amagoba mangi.
00:4801:08Katungulu ccuma akulira mubika byembeera y'obudde eyenjawulo era asinga kwagala bbugumu ly'akigero.
01:0901:19Katungulu ccumu asobola okukulira ku ttaka egimu eriddugavu, ely'olusenyusenyu era n'eryebumba omuli ekiriisa kya kaboni (carbon)
01:2001:46Katungulu ccumu tumusimba tweyambisa mpeke, kozesa kilo 150-200 empeke ennamu obulungi okusimba mu yiika kumi nanya era simba munyiriri.
01:4702:09Simba empeke kubuwanvu bwa cm 5.5-7.5 nga ekitundu ekimera kitunude waggulu mumabanga ga cm 15 era bukka nettaka nga tono.
02:1002:32Simba mumweezi gw'omukaaga okutuusa mugw'omusanvu oba ogwekumi okutuusa mugwekumi n'ogumu munyiriri za cm 15 era fukirira kitono.
02:3302:55 Teeka kilo 20,000 zannakavundira omulungi mubuli yiika kumi nanya okwongeza kubugimu bwettaka. N'oluvanyuma, teeka kilo 60nez'ekigimusa kya NPK mubuli yiika kumi nanya.
02:5603:23 Ennaku 30 oluvanyuma lw'okusimba teekamu kilo 10 ez'ekigimusa kya borax mubuli yiika kumi nanya. Fukirira enimiro oluvanyuma lw'okusimba.
03:2404:07Tangira emiddo nga okozesa engalo era wegendereze ebiwuka n'enddwade. Katungulu ccumu akungulwa oluvanyuma lwennaku 135-150 oluvanyuma lw'okusimba.
04:0804:28Oluvanyuma lw'okukungula katungulu ccumu mukuumire mukisiikirize okumala ennaku 2-3. Ekisembayo jako ebikoola ebikalu, longoosa, ssunsula era osengeke katungulu ccumu.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *