Awali ebikozesebwa ebyomutindo wamu n’enkola enungi mu kulima abalimi basobola okwanguyirwa okufuna amakungula mu kasooli nga mangi wamu n’omutindo nga guli waggulu.
Okwongerako, bwoba olwanyisa ebiwuka nga bingi nnyo mu nimiro fuyira nga okozesa 100ml eza cypermenthrine nga ozitabude mu bomba y’amazzi eya liita 16 ate bwebiba nga ssi bingi nnyo, tabula 16ml eza cypermethrine mu bomba eya liita 16 . Era okakase nti osimba mu layini okusobozesa kasooli okumera obulungi era tolimamu bintu birala okusobola okumulabirira obulungi.
Enima
Tandika nga olonda ettaka egimu, eridugavu, eriwewuka nga muwogo tasimbibwangawo ko mu biseera ebyakayita.
Bwomala sambula eniniro era opime obunene bw’ekitundu wogenda okusimba ensigo okusobola okufuna obungi bw’ensigo obumala era oguleebokozesebwqa ebyomutindo okuva eri abatongozebwa.
Kakasa nti osimba empeke 2 buli kinya nga amabanga gali 25cm wakati w’ebinnya , 75cm wakati wa layini nga enkuba yakatandika okutonya okusobola okwongera ku makungula.
Nga wayise enaku 1-3 okuva lwosimbye fuyiramu eddagala ly’omuddo okugutta era ku naku 15 okuva lwosimye, okulemu kasooli omulwadde okusobozesesa asigadde okwegazanya wamu n’okubala.
Era ku wiiki 3 okuva lwosimbye tekamu obusanikira bwa soda 2 obwa NPK 5cm okuva ku kikolo nga wetolooza okwonbera ku bugimu mu ttaka.
Lamulanga enimiro, olwanyise ebiwuka wobirabira era okunganyize ettaka ku kikolo, okoole omuddo nga kasoolo yakaweeka okukuuma amazzi mu ttaka wamu nokugumira embuyaga.
Okugatako, teeka obusnikira bwa soda bubirinobw’ekigimusa okwetoloola ekikolo nga kasooli aleese oluyanga okusobola okwongeza ku munwe.
Okwongerako, olina kukungula nga eminwe gikaze ebiseera ebisinga ku wiiki 16-17 okuva lwewasimba.
Kakasa nti kasooli ku minwe omugema nga tonamuterka okumukuuma ova eri ebiwuka byona era amakungula ogatereke mu kifo ekirimu empewo obulungi, nga omuwanise era nga ekiyumba okikuuma okusobola okukala amangu wamu nokwewala emese.