Okutabika ebirime kitegeeza kulima ebimera ebyenjawulo mu nimiro yeemu ebiwa emigaso egy’enjawulo eri omulimi.
Wabula kirungi okwegendereza obutatekawo mbeera yakulwaanagana kwa bimera era owabulibwa okulonda ebika byebimera byotabika nga osinzira ku nimiro yo.
Engeri Z’okutabika ebirime
Mu nyiriri: Wano osimba ebimera ebyenjawulo mu layini mukiseera kyekimu.
Strip: Wano okungaanya ettaka nga okoal layini ensitufu nga mpanvu nosimbako ebimera ebyenjawula nga naye biri mu nimiro emu.
Mixed: Wano osimba ebirime ebyenjawula nga tewali mutendera gwogoberera.
Riley: Wano, ekika kyekimera ekirala kisimbibwa nga ekyasookamu kikulidde ddala naye nga tekinakungulwa.
Emigaso
Kikuuma obugimu bwetaka engeri ebimera ebyongera ekirungo kya nitrogen gyekizaawo ekyo ekiba kirilidwa ebimera ebyempeke.
Kiyambako okulwanyisa ebiwuuka nobulwadde obutera okukwata ekirime ekimu.
Kilwanyisa omuddo kuba buli wamu waba wabikiddwa ebimera.
Kiyambako obutafirwa nnyo singa ekimera ekikulu kibeera tekikoze bulungi.
Kyongera kubungi bwemere eyokuliisa amakka.
Kiletera obulimi okuba obwamagoba wamu nokwongera ku bugimu bwe ttaka ekyongeza ku mere n’ensimbi.