»Okulima kamulaali oba ennima y‘akamulaali ayitibwa Black pepper«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=SAHek_b4lGY

Ebbanga: 

00:08:59

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
»Kamulaali ayitibwa Black pepper y‘omu ku birungo ebimanyiddwa nga bikabaka. Ekirungo kino kyazuulibwa okuva mu Western Ghats mu India. Mu India, kamulaali ayitibwa black pepper asinga kulimwa mu Kerala, Tamil Nadu, Karnataka, Konkan, Pondicherry ne Andaman, ne mu bizinga bye Nicobar . Ensi ya India y‘ennamba emu mu kulima, okulya n‘okutunda kamulaali ono mu mawanga g‘ebweru mu nsi yonna«

Kamulaali ayitibwa Black pepper kirungo ekimanyiddwa nga kikabaka mu birungo. Okulima kamulaali ayitibwa black pepper kulina omugaso gwa maanyi mu by‘enfuna kubanga afuna kiralu naddala mu bya maguzi ebitundibwa waberu w‘eggwanga n‘akatale akali mu mawanga amalala.

Ebika ebirongooseddwamu ebya black pepper mu India mulimu; panniyur 1; nga avamu kilo 1240 mu yiika 14, panniyur 2 avamu kilo 2600 mu yiika 14, panniyur 3 avamu kilo 1950 mu yiika 14, panniyur 4 avamu kilo 1270 mu yiika 14, panniyur 5 avamu kilo nga 1100 mu yiika 14. Subhakara avamu kilo 2350 mu yiika 14,Sreekara avamu kilo 2680 mu yiika 14, Pancham avamu kilo 2800 mu yiika 14, Pournami avamu kilo 2300 mu yiika 14

Embeera y‘ettaka n‘obudde eyetaagisa

Kamulaali ayitibwa black pepper akulira nnyo mu bitundu ebifuna omusana , ebbugguma n‘ebiwewevu era nga bifuna enkuba mu mwaka eweza 200 cm. Ettaka erisaanidde okusimbako kamulaali aitibwa black pepper lirina okuba liddugavu ate nga limyukirivu n‘erya kibugga nkofu nga lirina ekirimu ekigimusa, nga teriregama mu mazzi ate nga lirina ekipimo ky‘olunnyo kya 5 ne 6.5.

Kamulaali ayitibwa black pepper asimbibwa nga bayita mu mutendera gw‘okusala oba okusimba ensigo. Naye ensigo zitwala obudde bungi era tezirimibwa nga zakutundibwa. Mu kusimba nga tokozesa nsigo, simba ebikolo 2 ku 3 ebya black pepper ebisaliddwa mu bibbo ebikoleddwa mu mabanda oba ebiveera ebigulumivu.

Okusimba kamulaali ayitibwa black pepper

Ekikolo ekya black Pepper ebisaliddwa biba bituuse okusimbulizibwa mu myezi 3 zokka. Naye olw‘okuba ekirime kino kiranda, kiba kyetaagisa ekintu ekikiyamba. Simba kamulaali ayitibwa black pepper mu bbanga lya mita 3 ne 4 ku kipimo kya mita 0.5 ne 0.5 ne 0.5 nemu bbanga lya cm 30 okuva ku kintu ekikiwaniridde.

Nga omuyaga tegunaba kutandika, simba ebikolo by‘emirandira ebisaliddwako 2 ne 3 mu binnya ebiri mu ttaka n‘ekigimusa ekivunze. Lwakiri ekikolo kimu ekisaliddwako kirina okuteekebwa mu ttaka wansi n‘ekirala n‘ekisigala ku nkugulu.

Okuggyamu omuddo kulina okukolebwa okusobola okwongera ku makungula, okukula , n‘okusoboozesa empewo okuyingira mu ttaka mpozzi n‘okujjako emitunsi egigudde.

Okukungula kamulaali ayitibwa black pepper

Kamulaali ayitibwa black pepper aba atuuse okukungulwa nga kamulaali atandise okuleeta langi emyufu mu myezi nga 6 ne 7 oluvanyuma lw‘okusimba era anogebwa ngalo oluvanyuma nateekebwa ku musana akale.

Ebiwuka n‘endwadde ebitera okwonoona kamulaali ono ayitibwa black pepper mulimu; ebiwuka ebiyitibwa flea beetle ne scale mpozzi n‘okuwotoka empola oba mu bwangu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:07Kamulaali ayitibwa black pepper kirungo kimanyiddwa nnyo nga kabaka w‘ebirungo byonna
01:0802:09Ebika bya kamulaali ayitibwa black pepper ebirongooseddwamu nga bya kutunda
02:1002:40Embeera y‘obudde eyetaagisibwa mu kulima kamulaali ayitibwa black pepper
02:4103:38Embeera y‘ettaka eyetaagisibwa n‘okusimba kamulaali ayitibwa black pepper
03:3904:49Engeri y‘okusimba mu kulima kwa kamulaali ayitibwa black pepper
04:5006:12Okukozesa ekigimusa
06:1307:31Omuddo ogutawaanya ebimera, ebiwuka n‘endwadde ezonoona ebirime , n‘okusalira
07:3208:39Okukungula kamulaali ayitibwa black pepper

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *