Entangawuzi za Cardamom ezimanyiddwa ennyo nga nnaabakyala w‘ebirungo kirime kinnansi kyomubibira ebyomubukiika ddyo bwa Buyindi. Entangawuzi eno ekozesebwa okuleeta akawoowo mu nteekateeka y‘emmere ey‘enjawulo, mu kufumba emigaati n‘eby‘okunywa.
Ekirime kino kirimwa mu bifo enkuba gy‘etonnya mu bungi bwa mmirimita lukumi mu bitaano ku nkumi nnya, n‘ebbugumu eriri wakati wa ddiguli kkumi ku asatu mu ttaano mu kipimo kya celciuos, n‘ettaka eriri ku bugulumivu bwa mmita lukaaga ku lukumi mu bibiri wamu n‘enkuba okuba ebuna obulungi wonna. Ettaka eriddugavu erijjudde obugimu obuva ku kuvunda kw‘ebikoola n‘ebirala eby‘obutonde erisangibwa mu bitundu eby‘ebibira ly‘eddungi okulimiramu entangawuzi ekika kya cardamom. Entangawuzi eno era ekula nnyo ku ttaka erimyukirivu, ettaka eggimu ery‘olubumbabumba, n‘ettaka eriddugavu eritalegamamu mazzi. Ettaka ery‘olusenyusenyu si ddungi ku kirime kino.
Ensimba y‘entangawuzi eno mu mmerezo
Entangawuzi ekika kya Cardamom esimbibwa esimbibwa na nsigo era wamu n‘ensimbo nga buli emu eriko waakiri omutunsi gumu omukulu n‘akato. Endokwa ebiseera ebisinga zimezebwa nnyo mu mmerezo esookerwako n‘eyookubiri. Ettaka lirime waakiri obuwanvu bwa ssentimmita asatu ku ana mu ttaano wansi n‘emmerezo eziriko obugazi bwa mmita emu, obuwanvu obusaanidde wamu n‘obusimba bwa ssentimmita makumi asatu.
Ettaka eggimu litekebwa mu mmerezo. Ensigo ziggibwa mu bibala ebyengedde obulungi era ne zisimbibwa amangu ddala nga zaakaggibwamu. okumera kutandika oluvannyuma lw‘ennaku ng‘asatu era ne kugenda mu maaso okumala omwezi gumu ku ebiri.
Entegeka y‘ettaka n‘okusimbuliza
Okugimusa ettaka mu bipimo bya ggulaamu kyenda ez‘ekirungo kya nitrogen, ggulaamu nkaaga eza phosphorous ne ggulaamu kikumi mu abiri eza potassium mu buli mmerezo ey‘obugazi bwa mmita ttaano ku emu emirundi esatu egy‘enjawulo mu bbanga lya nnaku ana mu ttaano ku buli mulundi nga bwe kiragibwa okufuna endokwa ennamu obulungi.
Ebinnya ebiriko obugazi bwa ssentimmita ana mu ttaano ku ana mu ttaano ku asatu bisimwa ne bijjuzibwa omugatte gw‘ettaka ne nnakavundira oba ekigimusa ky‘obusa okuva ku ddundiro. Okusimba kukolebwa mu biseera eby‘enkuba. Ebiseera eby‘ekikome birungi nnyo mu kusiga. Endokwa zisimbulizibwa ne zisimbibwa mu mabanga ga ssentimmita abiri ku abiri olwo okubikka ne kukolerwawo amangu ddala.
Okufukirira n‘okukungula
Kkiro nsanvu mu ttaano ez‘ekirungo kya Nitrogen, kkiro nsanvu mu ttaano eza phosphorous ne kkiro kikumi mu ataano eza potassium ng‘ebigimusa z‘eziragirwa okuteeka mu ttaka mu mbeera eriwo ey‘okufukirira. Mu musiri okubala ennyo, osobola okukungula kkiro kikumi mu buli yiika kkumi na nnya. ekigimusa kiteekebwamu emirundi ebiri egy‘enjawulo.
Okufukirira kulina kukolebwa mu biseera eby‘omusana. Entangawuzi ya cardamom ebiseera ebisinga etandika okubala mu myaka ebiri okuva lwe wagisimba. Okunoga kukolebwa oluvannyuma lwa buli nnaku kkumi na ttaano ku abiri mu ttaano. Oluvannyuma lw‘okumunoga, ebibala bikazibwa nga byanikibwa mu kasana oba okukozesa amasannyalaze. Birondebwamu ne biterekebwa mu buveera obuddugavu.