Ennanansi zeetaagibwa nnyo era zeetaaaga ebbbugumu lya 21-29 degree celsius n‘enkuba ebunnye obulungi ng‘eri ku kipimo kya 600mm. Okuyiga endagiriro eno kiyamba okwongera ku nnima yaazo.
Siga ku kaserengetto akatali kamaanyi kiyambe ku okusobozesa amazzi okunnyikira amangu negatalegama era wetanire okulima ng‘okyusakyusa ebirime. Ettaka liwumuze mu okumala emyaka essatu okusobola okutta omuddo ,ebitonde ebyonona ebirime n‘obulwadde obukwata mu mitendera. Ekinogolerwa (Suckers )kyakipimo 250-450 grams
Ebirina ogoberebwa ng‘olima ennanansi.
sooka olonde ekifo ekiri okumpi n‘ekkubo okusobola okwanguya entambuza y‘ebintu ebikozesebbwa mu nnimiro n‘ebyo ebitwalibwa mu katale. Era faamu yo osobola ogisa mu kiffo ekiri okumpi newosobola okujja amazzi kubanga geetaagibwa nnyo mu bikolebwa ku faamu. Mukwongerako,teekateeka ennimiro yo ng‘osaawa ,ng‘oyokya, n‘okusigula enkonge.Kabala ennimiro buli luvannyuma lwaa wiiki 3 era okube amavvunike g‘ettaka emirundi ebiri okusobozesa ebigimusa okuvunda. Tuuma ettaka ng‘olekawo enkuubo nga ziri ku bugazi bwa 60-70cm , obuwanvu bwa 30cm era olekewo n‘ekipimo kya 50 ku 60 mu makaatti g‘entuumo okusobola okwewala omuddo. Seetessa kungulu w‘entuumo ezo okusobola okuziyiza amazzi okulegama wansi ekiyinza okuviira ko obulwadde bw‘olukuku.
Okugimusa
Olina okusaasannya ebigimusa ebirina ekirungo ekimu ekya ammonium fertilizers, sulphate of ammonium ne urea okusobola okutumbula ettaka. Womala entuumo zibike ko akaveera akabiika ennimmiro okusobola okukuuma obuwewevu n‘okuziyiza omuddo. Osobola okusulika ekinogolerwa(Suckers) era otemeko ebikoola okusobola okukitunuza eri omusana. Womala ekyo, yawula ebisimbibwa ebirina obulwadde era otteme ebikola bisobole okuddamu okukula era otteme n‘ebyo ebidiridde wansi okusobozesa emirandira okukula n‘okulaga obuwuka obuyitibwa mealy bugs n‘enkuyege.Ngatonasimba, fuyira ekinogolerwa( suckers)n‘eddagala erita obuwuka obuleeta endwadde z‘olukuku era okikaze okusobozesa amazzi okukiyingira.
Ekisemba, simba mu kipimo kya 30cm mu makati g‘ennyiriri n‘ekipimo kya 25cm mu maakaati g‘ebirime okusobozesa emirandira okukula obulungi.