Okusimba ensigo nga okyusa mu birime kyongera akatyabaga k‘okulumbibwa endwadde okugeza okuwotoka okuleetebwa obuwuka. Ebirime okuli canola, brassica napus bireetawo okutta obuwuka okw‘obutonde mu bummonde era bikendeeza ebiwuka ebirumba ensigo.
Okusimba obummonde mu nnimiro kikubirizibwa okukolebwa omulundi gumu mu myaka ena okukendeeza ku kulumbibwa okuyinza okukolebwa ku nsigo ennyonjo. Weewale kaamulali n‘ennyaanya anti bijja kusenza obuwuka obuvaako endwadde obusangiddwa mu ttaka.
Obummonde busobola okukyusibwakyusibwa mu nnimiro n‘ebirime nga; ensugga. Lumonde, ensujju, ekimuli ekirina enkuubo za kyenvu ekiyitibwa spider plant, enva endiirwa eza spinach, bimera birungi era tebirina bulabe omuntu by‘ayinza okuzza w‘aggye obummonde obw‘ensigo.
Okulima nga omereza ebirime mu magezesezo g‘ebya ssaayansi(labalatole) mu kukozesa obutaffaali bwabyo
Obudde bungi obumalibwa mu kulima ebirime ebiriibwa emirandira oba enkolo mu kukozesa enkola ez‘okugatta ebirime. okubunyisa amawulire mu balimi kibayamba okulaba obwetaavu okumanya ebika by‘ebimera eby‘enjawulo ebibireetera okubeera bwe bityo mu buli kika.
Enkola y‘okumereza ebirime mu magezesezo g‘ebya ssaayansi nga okozesa obutaffaali bw‘ebirime kuleeta endokwa ng‘enkumi bbiri mu kikumi mu mwaka gumu n‘ekitundu nga ogeraageranyizza n‘enkola ey‘okugatta ebirime eyinza okukuwa endokwa ng‘ebikumi bina mu abiri mu myaka ng‘ena n‘ekitundu.
Okufuna endokwa ennyingi mu bbanga ettono kuli waggulu nnyo era kukendeeza obudde omuntu bw‘akozesa, obugazi bw‘ekifo mw‘akolera n‘ensimbi ezisaasaanyizibwa ku bakozi.
Okulimira mu bbanga
Enkola y‘okulimira mu bbanga y‘enkola ebimera mwe bikulira mu bbanga naye nga ebiriisa bitabuddwa nga bya luzzizzi ne biteekebwa ku mirandira gy‘ebirime. Newankubadde enkola y‘okulimira mu bbanga ya bbeeyi, egoba ebitonde ebyonoona ebirime awamu n‘endwadde.
Simba emirandira egiriko obusongezo mu bituli mu bbanga lya ssentimmita nga abiri, kisobozese emirandira okulengejja. Teeka oluzzizzi olutabuddwamu ebiriisa ku mirandira gisobole okufuna ebiriisa okuva mu mazzi agalimu ebigimusa.
Newankubadde enkola y‘okulimira mu bbanga egoba ebitonde ebyonoona ebirime wamu n‘endwadde obutalumba birime.
Ennima eyeesigamiziddwa ku butonde
Ennima eyeesigamiziddwa ku butonde kwe kulima okutaliimu kukozesa ddagala wamu n‘okukozesa ebigimusa ebitali bya butonde. Obusaka obw‘obutonde bubeeramu akawoowo akagoba ebitonde ebyonoona ebirime wamu n‘okujjanjaba amabwa ku mibiri gy‘abantu.
Obulimi obwesigamiziddwa ku butonde bwandiba obw‘ebbeeyi. Kyetaagisa ttani makumi abiri ez‘ebigimusa okumala yiika emu.
Kikendeeza ku ndwadde n‘obukosefu mu bantu ate nga n‘ebivaamu biwoomu ddala.