»Okulima emyungu e waka«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=0uBuHOo5VO8

Ebbanga: 

00:06:06

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Garden Yard
»Okusimba, ensigo, okusimba n‘okulabirira emyungu«

Emyunga bibala byamugaso eri obulamu nga birimwa abalimi okulibwa wamu nokufunamu sente. Gino gisobola okulibibwa awatali busibu awaka era nga gyetaaga ettaka tonookulimirako.

Bwegiba gikula kuba obutuli mu ntobo z‘emikibe mwogenda okusiimba endokwa, kino kikolebwa okulaba nga amzzi gatambula bulungi. Okwongerako, kozesa omusenyu nga osiimba ensigo kubanga guyamba kuntambula y‘amazzi olwo ebimera nebikula bulungi nemirandira okusimba obulungi.

Okulima paka ku kukungula.

Sokka onikke ensigo mu mazzi okumala esaawa 2 okuziweweeza bwomala ozizinge mu lupapula olugonvu era ozise mu mukebe okumala esaawa 12 zisobole okutekebwatekebwa nokuleeta emirandira. Okwongerako, mansira amazzi ku lupapula plwo oziteeke mu mukebe osibibeko okusobola okukola oluzzi munda mu mukebe.

Okwongerako, zitereke okumala esaawa 12 zisobole okuleeta emirandira olwo osimbe mu bikebe nga obikubyemu ebituli mu ntobo. Okweyongerayo tabual ettaka n‘obukuta bw‘omuceere n‘obusa obukalu okwongera ku bugimu mu ttaka olwo osimbulize endokwa nga wayise enaku 7.

Era ettaka olibikke ne nylon nga omazze okusimbuliza okusobola okukuuma otuuzzi mu ttaka n‘okwewala omuddo okumera, kuno ozaako kuzimba kiyumba okulandizako emyungu. Nekisembayo ebimuli bitundule nengalo okusobola okufuukamu ebibala okwongera ku makungula.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:25Emitendera gy‘okulima n‘okulabirira emyungu
00:2600:34Nyika ensigo mu mazzi okumala esaawa 2
00:3500:43Ensigo zibikke mu kipapula ekigonvu olwo oziteke mu mukebe okumala esaawa 12
00:4400:50Ku kipapula fukirirako otuzzi , okiteeke mu mukebe omale ogusanikire.
00:5101:07Zitereke okumala esaawa 12 era osimbe mu mikebe nga girimu ebituli muntobo wansi.
01:0802:17Kozesa omusenyu nga osiimba era okole ekirungo kwosimbira endokwa.
02:1803:06Tabual ettaka n‘obukuta bw‘omuceere wamu n‘obusa bw‘ente olwo osimbulize endokwa
03:0704:14Ettaka libikke ne nylon era emyungu ogikolere ekitandaalo kwezirandira.
04:1505:54Ebiwumuli bitundule n‘engalo era okungule ku naku 90
05:5506:06Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *