Emmwanyi ekika kya Arabica kikula bulungi mu bifo by‘ensozi ate emmwanyi ekika kya Robusta kikula bulungi ddala mu bifo eby‘ebikko, wabula okuyita mu mitendera emituufu egy‘okulima, abalimi basobola okufuna ekiwera okuva mu bulimi bw‘emmwanyi.
Emmwanyi ekulira bulungi mu ttaka eggimu eritalegamya mazzi, noolwekyo enkola z‘okukuuma ettaka n‘amazzi okugeza; okutema ensalosalo n‘emifulejje birina okuteekebwa mu nkola okuziyiza okukulukuta kw‘ettaka mu nnimiro z‘emmwanyi. Mu ngeri endala mu nnimiro enkadde, okulima tekulina kukolebwa okutangira eky‘okukosa emirandira gy‘emmwanyi.
Kikubirizibwa okusimba ebitooke mu mmwanyi okuleeta ekisiikirize eri endokwa z‘emmwanyi n‘okutangira omuddo ekintu ekikendeeza ku kulwanira ebiriisa. Era ku myezi mukaaga weta endokwa ennamu obulungi nga ozitunuza enjuba gy‘eri.
Emitendera egy‘okugoberera
Ekisooka, gezesa ettaka okuzuula obutuufu bwalyo omanye n‘ebigimusa eby‘okuteekamu olwo oteeketeeke ettaka okuggyamu ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde ezandikosezza ebimera. Kino kiddirirwa okusima ebinnya eby‘okusimbamu endokwa, teeka obulambe obulaga emmwanyi we zinaasimbibwa, ffuuti kkumi ku kkumi mu mmwanyi za Arabica so nga ffuuti munaana ku munaana mu mmwanyi za Robusta okusobola okusimba ebirime ebirala mu buli yiika.
Oluvannyuma lw‘ekyo, sima ebinnya ebikka wansi ffuuti bbiri, ffuuti bbiri mu bugazi era obiteekemu ettaka ly‘omaze okutabulamu ebigimusa ekiddirira kwe kusimba endokwa ezikakasiddwa okuva mu bazitunda abaakakasibwa. Fukiririra nga tonnasimba era oddemu nga omaze okusimba okutaasa endokwa obutafa era oteekewo engeri y‘ekisiikirize nga omaze okusimba. Okwongerezaako, salira okukendeeza ku kulumbibwa okuva ku bitonde ebyonoona ebirime era ennimiro bw‘eba eweza emyaka nga musanvu ku mwenda salako ettabi erimu ffuuti ng‘emu okuva ku ttaka mu ngeri ya busimba okuziyiza amazzi okulegama, bikka nga otandikira mu ffuuti emu okuva ku kikolo okukuuma oluzzizzi, tangira omuddo era ogattemu ebigimusa ffuuti bbiri okuva ku kimera okuziyiza obulumbaganyi obukolebwa ebitonde ebyonoona ebirime.
Enkola ez‘endabirira
Naye era lambula, ziyiza ebitonde ebyonoona ebirime, endwadde era okendeeze ku kisiikirize ekisukkiridde anti kino kikuuma ebitonde ebyonoona ebirime, naye towulula nga onoga emmwanyi. Era mu kunoga emmwanyi, kuumira emmwanyi ezinogeddwa mu bisero okukuuma omutindo oluvannyuma ggyako akakuta mu ssaawa kkumi na bbiri era otereke emmwanyi mu kintu mwe ziyinza okuteekebwa okkula essaawa kkumi na bbiri ku abiri mu nnya okusobozesa okukaatuuka okugere. Okwongereza ku ekyo, kaliza emmwanyi ku kintu ekitukula, totuuma mmwanyi zitannakala era oluvannyuma zikuumire mu bukutiya oba ebibaawo walako n‘ebisenge wadde engalama okwewala okuwumba. N‘ekisembayo, kuuma ebiwandiiko byonna ebikwata ku bikoleddwa wamu n‘ebiguliddwa okwanguyirwa okutuuka ku kugobolola mu bulimi bw‘emmwanyi.