Okulima emboga kimu ku bbiizinensi ezifuna ennyo. Wano, abalimi bayiga enkola z‘okulabirira ettaka n‘ebirime ez‘okukozsa mu kulima.
Emboga nsibugo ya kiriisa kya vvitamiini C n‘eky‘ebiwuziwuzi ekiyitibwa fibre ekitangira okwesiba kw‘olubuto.
Emitendera gy‘okulima
Emitendera gy‘okulima egy‘enkukunala mulimu, okulonda ekika ekituufu wamu n‘okukozesa enkola ennungi ez‘okulabirira ettaka n‘ebirime.
Mu kulonda ekika, fa ku nnaku ze kitwala okukula anti kye ekisalawo n‘emirundi egy‘okukunguliramu mu mwaka.
Fa ku bunene bw‘emboga, obutunda ennyo ku katale.
Okufaanagana mu birime kulina okufiibwako bisobole okukulira mu kiseera kyekimu.
Abalimi era balina okufa ku buwanvu bw‘ekiseera ennimiro bw‘esobola okuwanirira ekimera, anti ennimiro erina ekiseera ekiwanvuko y‘esinga obulungi.
Ekika ekyo kirina okuba nga kigumira endwadde naddala obulwadde obukuba ebiba ebiddugavu ate ne buvunza emboga.
Ebimu ku bika mulimu, fabiola, cabbage delight, ne cabbage cotton.