Okulima emboga ez’okutunda wamu n’endabirira yaazo – Kifune bulungi (Ekitundu ekisooka)

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=doWvggeuxhM

Ebbanga: 

00:10:03

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
» www.Farmers.co.ke ky'ekibanja ky'ebyesigika ebikwata ku by'obulimi n'obulunzi obw'okukola amagoba ebisangibwa ku mikutu emikwanirawala. «

Ebiteekebwa mu bulimi n’obulunzi okugeza, ensigo ez’omutindo, ziwa enakungula amalungi ne ssente eziwerako. Endokwa ezivudde mu nsigo ez’omutindo zijja kubeera z’amaanyi era zikulire kumu nga zifaanagana, era n’ebirime bijja kukula manguko.

Okunoonyereza kulaga nti emboga ezisiba zisaanikira mangu nnyo ekika ky’emboga ezimanyiddwa nti tezisiba. Obulimi bw’emboga mu Kenya bulimu engeri bbiri; esooka, z’emboga ezirimwa nga za kutundira mu ggwanga era eziriibwa abantu abaabulijjo, n’emboga ezirimwa nga za kutunda bweru wa ggwanga. Abatunda ensigo z’ebimera abayitibwa Simlaw seeds balaba nga abalimi bafuna ensigo z’emboga ez’omutindo. Abalimi abalima ebitonotono basobola okwongera ku makungula gaabwe n’ebitundu abiri ku buli kikumi, era ne bakendeeza okufiirizibwa n’ebitundu asatu ku buli kikumi.
 

Okulima emboga

Emboga zikula bulungi mu ttaka ery’olusenyusenyu eritalegamamu mazzi nga lirimu ebigimusa eby’obutonde, n’olunnyo lwa bipimo ebiri wakati w’omukaaga n’obutundu musanvu okutuuka ku kipimo ekiweza omusanvu. Kimera kya njawulo ekisobola okukula nga kigumira embeera y’obudde ey’enjawulo.
Waliwo ebika by’emboga bingi ebisobola okukula obulungi mu budde obuweweevu ate ebirala ne bikulira bulungi mu budde obw’ebbugumu.
 

Ebika by’emboga

Kikulu okumanya ebikwata ku mbeera y’obudde mu kitundu osobole okulima ekika ky’emboga ekituufu. Emboga eyitibwa Gloria F1 ky’ekika ekisinga okumanyibwa ennyo mu balimi. Kikulira mu mbeera zonna ez’obudde. 
Okukozesa ensigo ez’omutindo kimu ku bintu ebyongera ku ebyo ebiggibwa mu bulimi n’obulunzi mu nkola yonna ey’okulima n’okulunda.

Ebirungi by’okukyusa obutaffaali bw’ekirime mu meetegererezo g’ebyassaayansi 

Ebirungi mulimu: okweyongera mu bungi bw’amakungula g’ekirime, okukendeera kwa ssente ezisaasaanyizibwa ku kukola emmere n’eddagala, okukendeera mu kwetaaga okukozesa eddagala eritta ebitonde ebyonoona ebirime, okwongera ku bungi bw’ebiriisa n’omutindo gw’emmere, okuba nga tebirumbibwa bitonde ebyonoona ebirime awamu n’endwadde. 
Kya mugaso abalimi okukozesa ensigo ezimaze okugezesebwa ku ndwadde n’ebitonde ebyonoona ebirime. Okukebera ettaka kwe kwekenneenya ettaka okuzuula ebipimo by’ebiriisa wamu n’obuwuka obulyonoona. Era n’ekipimo ky’olunnyo, oba ettaka lirimu ebiriisa, amazzi oba obuwuka obuyamba okubeera n’ennimiro ennamu obulungi.
Soma ebisingawo ku nnima ey’okukola amagoba awamu n’endabirira y’emboga – Kifune mu butuufu bwakyo ekitundu ekyokubiri. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:46Emboga ezisiba zisaanikira/zibuutikira mangu ekika ky'emboga ezitasiba.
00:4701:51Ebika eby'enjawulo mu bifo eby'enjawulo.
01:5202:19Emigaso gy'ensigo ez'omutindo ogwa waggulu okwongera ku bifunibwamu.
02:2003:33Ekifo n'embeera y'obudde eri ekika ky'emboga ekituufu. Ekika ky'emboga ekya Gloria F1 kisobola okusimbibwa mu bifo byonna ebirimu embeera yonna ey'obudde.
03:3405:31Okukyusa obutaffaali bw'ekirime mu meetegererezo g'ebyassaayansi kyongera ku makungula era ne kikendeeza ssente ezisaasaanyizibwa ku mmere oba eddagala.
05:3206:29Okukebera obulwadde mu nsigo awamu n'ebitonde ebyonoona ebirime.
06:3007:18Okukebera ettaka okuzuulamu ebiriisa ebyomuttaka.
07:1908:11Emiganyulo egiri mu kukebera okuyamba omulimi okwekwata ekirime era asimbe ekimera kimu nga yeeyambisa enkola ez'enjawulo.
08:1210:08Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *