Balugu mere mpoomu okulibwa ate gavaamu ne sente, getaaga enkuba ya 1000mm mu mwaaka ne ttaka erikulukusa mazzi obulungi nga jimu okusobola okula obulungi.
Enkula yaggo yetaaga kugoberera nima nyangu ddala okufuna amakungula amalungi.
Enima ya balugu
Londa enimiro era osambule okujjawo ensiko n’omuddo.
Tema ettaka nga olikungaanya okukola layini oba ebikakata nga byeyawudde mita emu 1m okusobola okukula obulungi.
Simba ekintu ky’omulandira 15cm wansi nga oluyi olutemeddwako lutunudde waggulu okusobola okumera obulungi.
Ensigo za babugu ezisimbidwa zibbike n’omuddo omukalu oba ebikoola kiziyize okufumuuka kw’mazzi.
Landiza balugu amangu ddala nga gakameruka nga okozesa enkondo zabuwanvu bwa 2m okugawanirila.
Beera nga okoola emirundi okusinzira ku muddo ogumera.
Simbuliza obwebindu osobole okuzaaza ensingo ento.
Mubwegendereza, kungula nga ebikoola bikazze nga ettaka terinakala kukaluba okwewala okukalabula balugu asobole okuterekebwa obulungi nobutasala beeyi mu Katale.